Sunday, January 3, 2021

Bannaddiini baagala abagagga mu Masaka batandikewo amakolero agawa abavubuka emirimu

Bannaddiini baagala abagagga mu Masaka batandikewo amakolero agawa abavubuka emirimu

BANNADDIINI basabye abagagga okutandikawo amakolero agebintu ebyenjawulo mu disitulikiti ezikola Masaka ey'awamu.

Bategeezezza nti ng'oggyeko ebyuma ebisunsula emmwanyi n'ebikuba kasooli naye ekitundu kino kikyali mabega nnyo mu by'amakolero ag'ebintu ebirala. 

"Amakolero bwe gabeera mu kitundu kyongere n'abavubuka bafunamu emirimo ate n'abantu babeerako by'ebatundayo ne kyongera kunnyingiza yaabwe",bwe bakaatiriza.

Bano abakuliddwa Fr Vincent Kateregga babyogeredde mu Mmisa gye bayimbye mu kutukuza n'okuwa omukisa ekkolero omunnaalongoosebwa emiti okujoongerako omutindo erya Ambiance Tree Farm Treatment Area e Kamutuuza, Bukulula mu Kalungu.

Fr Kateregga ne banne bebazizza omugagga Joseph Kiyimba owa Ambiance Waragi olw'okuzimba ekkolero lino mu Masaka nti agasse ettoffaali ku nkulaakulana y'ekitundu. 

"Masaka  tukyalina ennyonta y'amakolero na bwe kityo tusaba n'abalala mutuzimbireyo amalala tweyagale",bwe bakaatirizza.

Amyuka omubaka wa Gavumenti e Kalungu Hajat Sarah Nanyanzi abawagidde nti nga Kalungu baaniirizza buli nkulaakulana ejja mu kitundu. 

Akubirizza abatuuze boongere okukuuma emirembe n'obuteewakulamu ntalo zibaleetera kusojjaggana olw'ebyobufuzi okutuusa Jan 14 nendala lwe bannasuula obululu bwabwe kw'abo be baagadde okubakulembera mu kutwala Uganda mu maaso.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts