PALAMENTI eddako eyogeddwaako okuba "omuliro" olw'ababaka abamaanyi naddala abavubuka abaawangudde mu kalulu akaakaggwa.
Abooludda oluvuganya nabo beeyongedde omuwendo (baafunye ebifo 110 okuva ku 58 abali mu Palamenti eno).
NRM nayo eyisizzaamu 316, okuli ab'amaanyi ababadde mu palamenti nga Sipiika Rebecca Kadaga asuubirwa okweddiza ekifo kino ng'avuganya n'omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah.
Ekibiina kya FDC ekirina akulira oludda oluvuganya (Betty Ocan) ne Nnampala Ibrahim Semujju Nganda kyayisizzaamu ababaka 28 okuva ku 36 abaliyo kati.
Aba NUP abakulemberwa Robert Kyagulanyi baayisizzaamu ababaka 61 era be bagenda okuleeta akulira oludda oluvuganya ne Nnampala.
Ababaka Mathias Mpuuga (Nyendo-Mukungwe) ne John Baptist Nambeshe (Manjiya-Buduuda) be basongeddwaamu olunwe okutwala ebifo ebyo olw'obumanyirivu mu Palamenti ate nga bombi bamyuka ba Pulezidenti wa NUP (Mpuga mu Buganda ate Nambeshe mu buvanjuba).
Ekirala ebitundu byabwe NUP yafunyeemuu ababaka. Mu Buganda NUP yafunye 59, buvanjuba babiri okuli Nambeshe n'omubaka omukazi owa Jinja City, Manjeri Kyebakutika.
NUP kye kigenda okulonda abakulira obukiiko obulondoola ensaasaanya ya Gavumenti mu Palamenti ng'aka COSASE ne Public Accounts Committee(PAC).
Aba DP baafunye ababaka mwenda (7 mu Buganda ate 2 mu Acholi).
UPC erina 9, JEEMA yayisizzaamu omu Asuman Basalirwa (Bugiri Munisipaali) ne PPP eyaleese Santa Okot (Aruu North)balina omu. Ebibiina ebirina ababaka byeyongeddeko oluvannyuma lwa Santa Okot owa People's Progressive Party (PPP) okuwangula e Aruu North.
Ababaka abataliiko ludda bali 78, nga ku bano omwogezi wa Gavumenti, Ofwono Opondo agamba nti NRM erinako 60, NUP erinako 4, FDC, 3 UPC, 3.
Ababaka bajja kweyongerako abalala 30 okuli abakiikirira amagye 10, abavubuka 5, abakozi 5, abaliko obulemu 5 n'abakadde 5.
Palamenti eriwo y'ababaka 445 kyokka bagenda kweyongerako okutuuka ku 514 oluvannyuma lw'okutondawo ebibuga, disitulikiti empya ne konsitityuwense.
Akulira oludda oluvuganya yenkana minisita ekitiibwa. Aba ne bajeti ey'enjawulo emuweebwa Palamenti, emmotoka kabangali emuwerekera, abaserikale abamukuuma n'abayambi.
Nnampala y'agaba ababaka b'oludda oluvuganya mu bukiiko, asalawo ne ku ntambula z'ababaka ebweru. Nnampala wa Gavumenti naye akola omulimu gwe gumu. Ruth Nankabirwa (Kiboga) y'ali mu kifo ekyo kyokka kimusubye oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kalulu akawedde. Yawanguddwa Christine Kaaya owa NUP.
BWE BANADDA MU KULWANA NGA BALEMEDDWA
Emmanuel Dombo, omwogezi wa NRM yawabudde ababaka b'oludda oluvuganya n'abagamba nti bwe banadda mu kulwana bajja kuba balemeddwa.
Yagambye nti obuzibu obubadde mu Palamenti y'ekkumi babadde balowooleza nnyo ku kukozesa ekifuba kyokka nga bakimanyi bulungi nti tebalina muwendo gubamala.
Yasabye abaalondeddwa obutakozesa nkola y'emu, bakimanye nti bazze kuweereza bantu, era bwe baba baagala okuzimba eggwanga balina kuyita mu kuteesa.
Ofwono Opondo omwogezi wa Gavumenti yagambye nti alina essuubi nti NRM ejja kwongera ku muwendo gwe balina kuba wakyaliwo okulonda kw'abavubuka, abakadde, abaliko obulemu n'amagye era akakasa nti bajja kutwala ebifo byonna.
PALAMENTI ENEEREETAWO EKYENJAWULO
Dr. Frederick Golooba Mutebi yagambye nti tasuubira nti Palamenti enaddako enaaba n'enjawulo ku ebaddeko kuba era NRM y'esinza ababaka abangi.
Ng'oludda oluvuganya yabasabye okuyiga okukolaganira awamu okusinga Palamenti ebaddewo kuba kino kye kijja okubasobozesa okussa ku Gavumenti akazito.
Oweek. Israel Mayengo yagambye nti tasuubira babaka ba ludda luvuganya kussaawo kyanjawulo. Kyokka ekyokuba nga be batono yagambye nti tekitegeeza nti tebasobola kubuutikira Palamenti kuba kimanyiddwa nti ababaka abateesa tebasukka 50.
Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira munisipaali) era nga ye nampala w'oludda oluvuganya naye tasuubira nti waliwo ebijja okukyuka ennyo. Yalaze okutya ku ky'okubeera ng'omutindo gw'ababaka gugenze gusereba ky'agamba nti kivudde mu kubeera ng'ababaka abayivu tebeeyisa mu ngeri eweesa ekitiibwa.
"Embeera eno ereetedde abantu okulowooza nti mu Palamenti tewali kikolebwa kisobola kukyusa mbeera zaabwe".
Kyokka Wakayima Musoke Nsereko (Nansana Munisipaali) yagambye nti bajjidde mu kiseera ng'eggwanga liri mu kusoomoozebwa olw'okulonda okwabaddemu vvulugu.
"Twagala okulaba ng'enfuga y'amateeka ebukala mu ggwanga, abantu bonna abali mu makomera olw'ebyobufuzi bayimbulwe. Ekirungi abalumirirwa eggwanga beeyongeddeko ku muwendo era bajja tuli beetegefu okuyiwawo omubiri ku lw'eggwanga," bwe yagambye.
Muwada Nkunyingi (Kyadondo East) yagambye nti bangi ku baalondeddwa bavubuka abagezeseddwa nga balumirirwa ensi yaabwe okusinziira ku bye bayiseemu nga banoonya obululu n'okugaana okugulirirwa.
Wadde ng'ekibiina kya NRM kye kisinza ababaka agamba nti basobola bulungi okubuutikira Palamenti nga bateesa ebigasa eggwanga n'okulaba nga Bannayuganda bonna babeera mu nsi egoberera amateeka.
"Obutafaanana nga Palamenti ebaddewo ababaka bwe babadde bafaayo ku nsonga z'abakulembeze ng'emisaala, ffe aba NUP tugenda kukulembeza nsonga z'abantu ba bulijjo ng'okussa emisolo n'ebirala," Nkunyingi bwe yagambye.
OLUTALO LW'OKULWANIRA OBWASIPIIKA
Olutalo luno lusuubira kuba wakati wa Rebecca Kadaga aliko n'omumyuka we Jacob Oulanyah. Bano bombi baamala dda okulaga nga bwe baagala ekifo kino.
Wadde nga Oulanyah agamba nti bakkaanya ne Kadaga mu 2016 amulekere ekifo ng'asuubizza nti tagenda kuddamu kikivuganyaako, ye Kadaga agamba nti tebalina we baawandiika ndagaano.
Ruth Nankabirwa, nampala wa Gavumenti agambibwa okuba ng'abadde yatandika dda kakuyege w'okufuuka Sipiika era okugwa kwe kulina okuba nga kwasanyusizza nnyo Kadaga.
Monday, January 18, 2021
Palamenti eddako yaakubaamu 'omuliro' NRM 316, NUP 61, IND 78, FDC 285 NUP y'ereese akulira oludda oluvuganya
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...