Bwannamukulu w'ekigo ky'e Butende mu Masaka, Fr.Timothy Ssemwogerere ayatulidde abakungubazi nti nga basuula akalulu ku Lwokuna nga January 14, balonde abakulembeze abo bokka abasinze okusiiyibwa ttiyaggaasi n'okunyigirizibwa. (Ebif. Bya Ssennabulya Baagalayina).
Akangudde eddoboozi nti "Ffe ng'Eklezia tusinga kwekubiira ku ludda lw'abanyigirizibwa nga bwe kiri ne mu byobufuzi, amaaso tugateeka ku bannyigirizibwa abayayaanira enkyukakyuka", Fr Ssemwogerere bw'aggumizza.
Abyogeredde mu bakungubazi abeetabye mu kuziika abadde omulamuzi omukulu eyawummula Justice Kibuuka Musoke. Amwogeddeko nti wadde abadde mwerufu mu nkola ye ey'emirimu kyokka akoledde wakati mu misege egyagala okulya buli kantu.
Wano walumbidde abeesimbyewo nga basula mu loogi n'abatalina maka mwe basobola kutuuza bantu kkumi nti abalonzi tebabakombya ku kalulu kuba tebalina we basinziira kubaweereza. Alabudde abalonda abantu olwa 'ffeesi' zaabwe nti bwe banaatuuka mu ntebe bajja kubafuukira bakifeesi.
Yeewuunyizza abagaba obukulu mu Gavumenti okubuusa amaaso Justice Kibuuka Musoke ne batamuwaako kukulirako balamuzi bonna mu ggwanga.
Omubiri gw'omugenzi gugalamiziddwa mu makage e Natitta-Matanga mu Masaka City. Omusigire w'omusumba w'essaza ly'e Masaka, Msgr Dominic Ssengooba y'akuliddemu okusabira omwoyo gw'omugenzi ku lwa mukamaawe Omusumba Serverus Jjumba.
Msgr Ssengooba atenderezza emirimu egikoleddwa omugenzi Kibuuka Musoke mu ddiini ye Enkatoliki n'ekitongole ekiramuzi nti ng'Eklezia bamufiiriddwa nnyo.
Amwogeddeko ng'omuntu abadde ow'amazima atalya nguzi ate ng'atuukirikika omukulu n'omuto awatali kwegulumizza ng'abadde ayagala nnyo eggwanga lye.