WASSWA LULE: ENGUZI ERABIKIDDE MU KUGULIRIRA ABALONZI
Omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu Wasswa Lule ate nga mutabani w'eyaliko omukulembeze w'eggwanga Polof. Yusufu Lule agamba: Abantu abasukka mu 50 okufa mu nnaku bbiri kyali kyabulabe nnyo eri eggwanga era kye kintu ekisinga okuba eky'ensisi ekyali kirabiseeko mu biseera eby'okunoonya akalulu.
‘Bannayuganda abattibwa bangi baali tebali mu kwekalakaasa! Ne bwe wabaawo ebirungi ebirabikidde mu kkampeyini zino, ojja kwesanga ng'ekibi eky'okufa kw'abantu kibisse ebirungi byonna ebyandibadde birowoozebwaako. Lule bwe yategeezezza.
Abantu abaafiira mu kwekalakaasa, balikola nga ekyokulabirako nti ssinga ‘weenyigira mu bwegugungo oyinza okufa'. Wabula abo abaafiirwa abantu baabwe abataali mu kwekalakaasa, era balibuulira abaana nti ‘kitaawo oba maama wo yafiira mu bwegugungo wadde nga ye teyabuliimu'.
Abeenyigidde mu kutulugunya eddembe ly'abantu , ekiseera bwe kirituuka balivunaanibwa mu kkooti ez'enjawulo. Balina okwesabira bavunaanibwe mu kkooti za gavumenti so si ez'abantu.
Mu ngeri y'emu era akalulu kano kabaddemu okugulirira abalonzi nga kino tekisosodde bali mu buyinza n'abali ku ludda oluvuganya gavumenti. Ssente babadde bazigaba kyere, ekyo kikyamu era tugenda kukisasulira ng'akalulu kaakaggwa. Ebyenfuna bigenda kukaluba wabula nga kino kivudde ku ssente ezisaasanyiziddwa ennyo mu kalulu.
MSGR. GERALD KALUMBA: OKUKOZESA OMUTIMBAGANO KYE KIRUNGI EKIRABIKIDDE MU KUNOONYA AKALULU
Msgr. Gerald Kalumba Vicar General nnamba bbiri ow'essaza ekkulu erya Kampala agamba: Okunoonya akalulu okw'omulundi guno kituufu tekabadde kwa bulijjo.
Abantu babadde tebakkirizibwa kukung'aana mu bungi ate ng'abeesimbyewo kibakakatako okubatuukako.
Ekirungi ekirabikidde mu kunoonya akalulu kuno kwe kuba nti abantu bayize okukozesa emikutu gimugattabantu. Olw'okuba okukuba enkung'aana kibadde tekikirizibwa abantu bakozesezza emikutu gino okutuuka ku bantu era kibakoledde.
Wabula eky'ennaku kiri ate waliwo abantu abakozesa emikutu gino mu bukyamu oluusi abantu bagikozeseza okusaasanya amawulire ag'obulimba ate olumu okusiiga abalala enziro.
Okusoomozebwa okulala kwe tulabye kubadde kwa bakuumaddembe, abalabiddwaako nga balemesa abeesimbyewo okutuuka mu bantu. Nnina essanyu nti kati Bannayuganda mu kufumbiriganwa tebakyafa nnyo ku mawanga nga ssinga abantu bafumbiriganwa nga bavudde mu mawanga ga njawulo okusosolagana nga basinziira ku mawanga kuba tekukyasobola kubalukawo gye bujja.
HAJJI RAMADHAN MUGALU: ABAVUBUKA BAJJUMBIDDE EBYOBUFUZI
Ssaabawandiisi w'ekitebe ky'Obusiraamu ekya Uganda Muslim Supreme Council, hajji Ramadhan Mugalu yategeezeza nti okutwaliza awamu talina nnyo birungi bya muzinzi by'alaba ebiganyuddwa mu kkampeyini z'omulundi guno.
‘'Omwaka 2020 gwalimu enzige , amataba wuuyo ssennyiga omukambwe era kkampeyini zaagenda okutandika nga bannansi bangi tebali mu mbeera nnungi ekivuddeko n'abamu ebya kkampeyini obutabissaako nnyo mulaka ‘'
Kyokka agamba nti omuganyulo gwokka gw'alabye mu kkampeyini zino gwe gw'okubeera nti abavubuka ku mulundi guno bajjumbide okwetaba mu byobufuzi era alina essuubi nti bangi ku bo ku mulundi guno bagenda kulonda .
DR. LIVINGSTONE SSEWANNYANA: ABAKUUMA DDEMBE BALINNYIRIDDE NNYO EDDEMBE LYA BANNAYUGANDA
Omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu Dr. Livingstone Ssewanyana akulira ekitongole Foundation for Human Rights Initiative agamba talabye nnyo muganyulo eri bannansi okugyako okulaba abeesimbyewo nga beesongamu ennwe kumpi kwagala kugwang'ana mu malaka mu kifo ky'okunnyonnyola ebyo bye bagenda okukolera abantu.
Yalaze ennyiike olw'engeri abakuumaddembe gye batulugunyizza n'okutirimbula abantu mu kkampeyini .
‘'Obulamu bw'omuntu omu businga ebyobugagga byonna ,abantu bwe babeera nga bafa ,batulugunyizibwa era nga basibibwa mu makomera nze awo ekirungi mba sikiraba ‘'
Yawadde ekyokulabirako nti buli okulonda bwe kusembera mu ggwanga abantu emitima gibatundugga.
Bonna abeenyigidde mu bikolwa ebibi balina okumanya nti ensi tekoma mu biseera bya kulonda byokka.
DR. AMOOTI KATEBALIRWE: ABAGONDEDDE EBIRAGIRO BAGANYUDDWA
Akola nga akulira akakiiko k'eggwanga ak'edDembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission Dr. Amooti Wa Irumba Katebalirwe yannyonyodde nga ssennyiga omukambwe bw'ataataaganyizza kkampeyini z'omulundi guno .
Yanenyezza bannabyabufuzi abajeemera ebiragiro by'akakiiko k'eggwanga ak'ebyokulonda n'ebyo ebyalambikibwa ministule y'ebyobulamu mu kutangira essennyiga omukambwe n'okwongera okuteekawo embeera ey'okusika omuguwa wakati wa poliisi n'abantu.
‘'Abagondera ebiragiro by'akakiiko k'ebyokulonda okusinga be bafunye mu kkampeyini zino olw'ensonga nti basobode okunnyonnyolwa biki bye bagenda okubakolera nga bayita ku mikutu gy'ebyempuliziganya so nga bannaabwe abajeemera ebiragiro obudde bwonna babumalidde mu kwenyoola na poliisi ‘'
FRANK MUGABI: ABANTU BAWEDDEMU ENSA
Frank Mugabi omwogezi wa minisItule y'Ekikula ky'abantu mu ggwanga agamba: Abantu okubeera abajeemu ennyo okulabikidde ku kunoonya akalulu kano, kivudde ku kuba nti abazadde n'abantu abalala abalina obuvunaanyizibwa okuyigiriza abantu empisa omulimu guno baaguvaako nga kati abantu bakuzibwa muwawa ekintu ekivaako okunyooma.
Ekirina okukolebwa naddala ng'akalulu kawedde buli kitongole kwe kukola omulimu gwakyo. Abazadde babuulirire abaana, abakulembeze b'amadiini balambike abantu ku biki ebirina okukolebwa naddala mu kaweefube ow'okukuuma emirembe.
Omwogezi w'akakiiko k'eby'okulonda Paul Bukenya agambye nti okusoomozebwa kwe basinze okufuna nga akakiiko kwe kutegeka okulonda mu kiseera nga ekirwadde kya ssennyiga omukambwe kya maanyi olwo okukwasisa amateeka okumutangira ne kifuuka kizibu.
Abantu abamu bacamuukiridde olw'okulaba ku bamu ku beesimbyewo abamu ne beerabira n'obuvunanyizibwa bwabwe obw'okukuuma obulamu.
Source