BYA MOSES LEMISA
OMUSAJJA eyagaanyi okusasula ssente z'entambula akiguddeko. Bamuyisizzaamu empi n'okumwambulamu empale n'oluvannyuma ne bamutwala ku poliisi y'oku Kaleerwe.
Kyokka bwe bamutuusizza ku poliisi n'atandika okwekola obusulosolo n'okutiisatiisa abantu nga bw'ava e Bukunja era abo bonna abamukozeeko effujjo bajja kwejjusa. Edward Kisseka 21, ow'e Bukunja ye yayambuddwa abasuubuzi b'oku Kaleerwe.
Julius Alitwijuka omuvuzi wa boodabooda yategeezezza nti Kisekka yajjidde mu takisi n'aviiramu e Kasangati n'amusaba amuweereyo 13,000/- kye yakoze. Yamusabye amutwale ku Kaleerwe ne balagaana 5,000/- ng'amutegeezezza nti ssente agenda kuzimuwa omulundi gumu.
Kyokka bwe yamutuusizza ku Kaleerwe n'atandika okwebuzaabuza n'okwefuula alina gw'akubira okumuweereza ssente. Baagenze okukizuula ng'essimu gye yabadde akozesa nfu. Yabadde akyewozaako aba boodabooda ne batandika okumukuba n'okumwambula.