Sunday, January 31, 2021

UOC ngirese nnyweevu - Blick

UOC ngirese nnyweevu - Blick

PULEZIDENTI w'akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo gya Olympics, aka Uganda Olympic Committee (UOC), William Blick mugumu nti anaamuddira mu bigere ajja kutwala bulungi akakiiko mu maaso.

Blick, abadde pulezidenti wa UOC okumala emyaka 10, ekisanja kye ekyokubiri kiggwaako omwezi ogujja. Ssemateeka w'akakiiko kano takkiriza muntu kwesimbawo kusukka bisanja bibiri.

"Tutendese abantu bangi abalina obusobozi okutwala UOC mu maaso," Blick bwe yagambye n'annyonnyola nti yeenyumiriza mu by'akoze mu kiseera kyamaze mu ofiisi.
"Twakomya entalo ezaali zifumbekedde mu mizannyo era kati ebibiina bikwatagana," Blick bwe yategeezezza.

'Nga mmemba w'akakiiko k'ensi yonna aka International Olympic Committee, hhenda kusigala mu kakiiko kuba ssemateeka wa UOC akikkiriza," bwe yagambye.
Ensonda ziraga nti Don Rukare, ssentebe w'akakiiko akaddukanya emizannyo mu ggwanga (NCS), y'alina enkizo okudda mu bigere bya Blick.

Blick yaliko pulezidenti w'ekibiina ekiddukanya Rugby mu 2013, n'omumyuka wa pulezidenti wa UOC nga tannalondebwa kukulira kakiiko kano.

Alina ebitone eby'enjawulo era azannye emizannyo omuli rugby, cricket, pikipiki z'empaka, omupiira, BMX, mmotoka z'empaka n'emisinde.

Awangudde ebikopo omuli eky'omuzannyi wa rugby eyasinga mu 1992, National Clubman Rally Champion (2006), Double National Motocross-winning coach (2016 ne 2017), ssaako engule ya ANOCA Award of Merit 2020.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts