Saturday, January 30, 2021

Abakristaayo b'ekkanisa y'omu Ndeeba eyamenyebwa bataddewo ey'ebibaati

Abakristaayo b'ekkanisa y'omu Ndeeba eyamenyebwa bataddewo ey'ebibaati

ABAKRISTAAYO mu kkanisa ya St. Peters mu Ndeeba eyamenyebwa basazeewo okuzimba ey'ekiseera nga ya mabaati. Kino bakikoze okusobozesa Abakristaayo b'omu kitundu kino okubaako n'ekifo we basabira.

Francis Nalukoola omukubiriza w'Abakristaayo mu Busaabadinkoni bw'e Mengo obutwala Ndeeba yagambye nti bakkiriziddwa Obulabirizi bw'e Namirembe basseewo ekifo eky'ekiseera okutuusa nga kkooti emaze okuwa ensala yaayo.

                    Ekkanisa Enkadde Gye Bayokya.

Ebyokwerinda ku kkanisa eno bikyali bya maanyi ng'abaserikale abassibwawo okukuuma bakyaliwo.

Ekkanisa eyaliwo yamenyebwa mu August w'omwaka oguwedde nga kigambibwa nti Dodoviko Mwanje eyali Omukristaayo mu kkanisa eno ye yali emabega w'okugimenya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts