Tuesday, February 16, 2021

25 abaamenye amateeka ga COVID basindikiddwa ku limanda

25 abaamenye amateeka ga COVID basindikiddwa ku limanda

Mukasa Kivumbi Lugazi

ABANTU 25 basimbiddwa mu kkooti e Lugazi ne bavunaanibwa emisango okuli ogw'okumenya ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky'okutambula ekiro n'okukung'aanira mu bbaala ekiro.

Abamu ku basajja abaavunaaniddwa.

Mu bano abavunaaniddwa ne basindikibwa ku limanda mu kkomera n'eyakwatira NRM bendera ki kifo kya Ssentebe wa Lugazi Central Division gwe batutte ng'akukkuluma olw'engeri gye yayisiddwaamu gy'agamba nti si yabuvunaanyizibwa.

Poliisi y'e Lugazi ng'eyambibwako amagye ga UPDF ne LDU  baakoze ekikwekweto ekiro mwe baayooledde abantu abawerako ng'abamu baasangiddwa mu bbaala ate abalala ng nguudo wakati w'essaawa 4:00 ne 5:00.

Abakyala nga bali mu kkooti.

Abantu abasing baabasanze mu bbaala Micheal Kayongo eya Pentagon Motel. Abakwatiddwa baasuziddwa ku poliisi ya Mabira gye baggyiddwa leero ne basimbibwa mu maaso g'omulamuzi Amabilisi Stella Maris mu kkooti y'e Lugazi.

Abalabiseeko mu kkooti kuliko: Michael Kayongo, Molly Nabitiibwa, Kashiringi Mary Sanyu, Nakawunde Maria, Nansubuga Yudaaya, Namwanje Sarah, Adriko Isaac, Lokiro Lukas, Okiringi Destorio  n'abalala. Baasindikiddwa mu kkomera e Bugungu okutuusa nga February 26, 2021.

Kyokka abakola mu makolero e Lugazi basabye Gavumenti eggalawo amakolero gano kubanga abakozi abasinga bannyuka kiro nga

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts