AKULIRA ekitongole kya poliisi ekikessi, Brig. Christipher Ddamulira yagambye nti abamu ku bakwatibwa beenyigira mu bikolwa eby'obutujju. Abamu baakasuka bbomu enkolerere ze baakasukira emmotoka kye yayise ekikolwa ky'obutujju.
"Pulezidenti yabadde mulambulukufu nti abakwatibwa mu bikwekweeto beenyigira mu bikolwa by'obutujju era nga kino kiriko obukakafu era tewali yakwatibwa awatali nsonga,"Brig Ddamulira bwe yategezezza.
Ku bya bbomu enkolerere abaakwatibwa okusinga baggyibwa Nsangi nga bano baali bazikasukira mmotoka ezaali ku luguudo lw'e Masaka ate endala yakasukibwa ku Nkurumah gye baakuba emmotoka ya Gavumenti. Yagaseeko nti waliwo bbomu enkolerere ezaasangibwa nga batadde petulooli mu bucupa n'endala gye baagatta emisumaali nga zino baaziggya mu Kikuubo, Arua Park n'endala e Busia.
Mbu bino byonna byaliwo nga baakamaliriza okulangirira ebyava mu kulonda Pulezidenti nga January 16, 2021. Waliwo n'abakwatibwa nga basaasaanya ebibaluwa bikirokitwala omunaku nga batiisatiisa okulumya bwe baawukanya endowooza z'ebyobufuzi.
Ddamulira yagambye nti waliwo abaali bakunga abantu okwekalakaasa nga bawakanya ebyalangirirwa akakiiko k'ebyokulonda nga basasaanya obupapula bwe baatambulizanga ku pikipiki n'abalala baakozesa mikutu gya ‘social media'. Yasuubizza ng'abakwate bonna bwe bagenda okusimbibwa mu kkooti.