Thursday, February 18, 2021

25 bavunaaniddwa okumenya amateeka ga kafiyu

25 bavunaaniddwa okumenya amateeka ga kafiyu

ABANTU 25 okuli n'eyeeli yeesimbyewo ku bwassentebe wa Lugazi Central Division ku kaadi ya NRM basimbiddwa mu kkooti e Lugazi ne bavunaanibwa emisango okuli ogw'okumenya amateeka ga kafiyu.

Abamu ku bakyala nga babatwala mu kkooti.

Michael Kayongo eyakwatira NRM bendera mu kulonda era nga ye nnannyini Pentagon Motel yakwatiddwa n'abantu abalala 24. Baakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa Poliisi y'e Lugazi ng'eyambibwako amagye ga UPDF ne LDU.

Abakwatiddwa bangi baakukunuddwa mu Pentagon Motel eri mu maaso g'eddwaaliro lya Lugazi Muslim Health Center. Baasimbiddwa mu maaso g'akulira abalamuzi mu Kkooti y'e Lugazi, Amabilisi Stella Maris ne baggulwako emisango egy'okumenya amateeka ga Corona kyokka bonna emisango bagyegaanyi ne basindikibwa mu kkomera e Bugungu okutuusa nga 26 /2/2021.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts