
BYA SAMUEL BALAGADDE EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya UNRA kimalirizza enteekateeka z'okutandika okusolooza ssente ku b'ebidduka abakozesa oluguudo lwa Entebbe Express Way.

Akulira ekitongole kino, Allen Kagina yagambye nti omulimu gw'okusolooza ssente baaguwadde GSL Road Corporation okuva e Bufalansa n'agamba nti bagenda kukola endagaano kkampuni eno kw'egenda okukolera nga baakugissaako omukono omwezi ogujja, babawe obudde basooke beetereeze balyoke batandike okukola.
Yayongeddeko nti, amateeka agaluhhaamya okusolooza ssente ku luguudo luno gaayisibwa dda palamenti ng'ekisigalidde ye minisitule y'ebyensimbi ne y'ebyenguudo n'entambula okusalawo ku muwendo omutuufu ogugenda okusasulibwa buli kidduka ekigenda okweyambisa oluguudo luno.
Kagina yabadde ayanjula lipooti y'ekitongole ku bituukiddwako mu bbanga ery'emyezi omukaaga okuva mu June okutuuka mu December 2020. Yagambye nti basobodde okukukola enguudo 26, ebidyeri 11 ssaako okuteeka emikono ku ndagaano ne kkampuni ezigenda okukola enguudo ez'enjawulo.
Yagasseeko nti, oluguudo oluva e Nakawa okutuuka e Njeru mu Jinja lugenda kuddamu okukolebwa mu bwangu ddala. Ying. Joseph Otim dayirekita mu UNRA avunaanyizibwa ku by'okuddaabiriza enguudo yagambye nti basobodde okuddaabiriza enguudo ezizze zoonoonebwa enkuba.