Wednesday, February 24, 2021

Abakugu baleese Walifu ya COVID-19 eneeyamba abantu okumutangira

Abakugu baleese Walifu ya COVID-19 eneeyamba abantu okumutangira

Bya Ruth Nazziwa

Bannassaayansi okuva ku yunivasite e Makerere bakoze okunoonyereza ku mbeera z'abantu abawangaalira mu nzigotta n'ebifo ebirala omuli abantu abangi okumanya embeera gye bayitamu mu biseera bya COVID -19 ne kye bamulowoozaako. Kino kye kyabaleese okuvaayo ne walifu ya COVID-19.

 "Walifu eno okuva ku nnukuta esooka eya ‘A' okutuuka ku esembayo eya ‘Z' zirina kye zoogera  ku mbeera ya COVID-19 mu ggwanga. Okuva obulwadde buno lwe bwabalukawo n'okutuuka kati, embeera zaffe zizze zikyukakyuka nga kati abantu bagenze bategeera n'okumanyiira obulwadde buno ekivuddeko embeera z'abantu okukyukakyuka mu bulungi oba mu bubi. Walifu eno ekyo ky'eriko," bw'atyo Dr. Gloria Seruwagi munnassaayaasi era nga mukugu mu kunoonyereza ku mbeera z'abantu okuva mu yunivasite e Makerere bw'agamba.

Dr. Seruwagi ayongerako nti, walifu eno nyangu okukwata ekinaasobozesa abantu okutegeera ebikwata ku COVID-19 naddala eri abaana.  Jjukira nti, ffena bwe twali tukula nga tutandika okusoma, zino ze nnukuta ze twatandikirako ekitegeeza nti, singa buli muntu azisoma n'amanya kye zitegeeza ku makulu ga COVID-19 kijja umuyamba okumanya n'okutegeera obulwadde buno ne ky'asaanye okukola okuziyiza obulwadde buno.

Zoogera eri abazadde, abasomesa, abasawo, poliisi, ab'ebibiina by'obwannakyewa abatuusa obuweereza eri abantu baabulijjo, abaana, buli muntu alina ky'alina okukola okuyamba obutasaasaanya bulwadde bwa COVID-19 mu biseera bino kuba obulwadde bukyaliwo naye abantu beesuuliddeyo gwa naggamba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts