Wednesday, February 24, 2021

Akaayanira ettaka yali mujulizi mu kulitunda

Akaayanira ettaka yali mujulizi mu kulitunda

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA ne MARGARET ZALWANGO
JAMES Kiggundu ow'e Buloba awakanyizza ebyayogerwa Vincent Ssebayigga nti abaamukwata baali bamulanga mpalana za kibanja kye bakaayanira. Kiggunda, eyazze ku ofisi za Bukedde yategeezezza nti ekibanja ky'alina, Ssebayigga ky'agamba nti kikye, akikola kubuzaabuza kubanga alina ebiwandiiko n'endagaano zonna eziraga obuguzi obw'enjawulo.
Agamba nti ekibanja kyali kya mugenzi Pere Kalooli eyakiwa muwala we, Anna Nanfuka mu 1990 ate Nanfuka n'aguza Ssimbwa, eyakiguza Kiggundu nga December 7, 2004. Kyokka Ssebayigga agamba nti yagula okuva ku Simon Ssali ne Alice Nabagesera abaafuna empapula ku bintu by'omugenzi Nanfuka eyafa mu 1998.
Wabula Kiggundu agamba nti ekimwewuunyisa kwe kubeera nga Ssebayigga agamba nti ettaka lilye, ye yajjako mu 2014 nga Kigguddu kw'ali okuva 2004 era waliwo endagaano eziragibwa ku ttaka eryo nga waliwo abatunda nga Ssebayigga ateekako omukono nga omujulizi ate oluvannyuma ne yeefuula nti lirye.
Kiggundu yalaze ezimu ku ndagaano nti nga October 9, 2017 Simon Ssali yaguza Godfrey Ssettuba olwo Ssebayigga n'ateekako omukono nga omujulizi ate October 9, 2014 Gerald Ssegawa yaguza Hassan Mubiru ow'e Sumbwe era omujulizi eyateekako omukono yali Ssebayigga.
Kiggundu agamba nti ettaka lino lye limu erisangibwa e Buloba olumu baalinako enkaayana ne bagenda mu kkooti e Wakiso, omulamuzi Doreen Karungi n'asituka n'atuukawo okubatawulula era Ssebayigga yaliwo naye teyakinyegako nti alinawo obwannannyini.
Kiggundu okutuuka okwogera bino kyaddiridde Ssebayigga okuvaayo nga February 10, 2021 mu Bukedde n'ategeeza nti abaamukwata ng'akalulu kaakaggwa baali tebamulanga bya kwekalakaasa wabula waliwo ettaka eriweza yiika ttaano lye yagula e Buloba b'akaayana nabo bebaamulukira olukwe bamukwate balimutwaleko.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts