Saturday, February 13, 2021

Abakugu bawabudde ku musolo ku kuggya ssente mu bbanka

Abakugu bawabudde ku musolo ku kuggya ssente mu bbanka

Bya JALIAT NAMUWAYA                                                                                                                                       ABAKUGU n'abasuubuzi bawabudde ku musolo omupya ogw'ebitundu 0.5 % gavumenti gw'etegeka okuleeta nga bagusala ku ssente omuntu z'aggyayo mu bbanka. Abasinga si bamativu n'enteekateeka eno gye bagamba nti kugenda kubeera kunyigiriza eri abantu abamu kubanga bwe kibeera ng'omuntu eyafunye omusaala baaguggyeeko omusolo ate oddira otya ssente ze zimu n'oyongera okuziggyako omusolo ng'aziggyayo mu bbanka!

Everest Kayondo, ssentebe w'ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KACITA yagambye nti abantu basangiddwa nga beemulugunya ku misolo egibaggyibwako ekitongole ekiwooza ky'emisolo ekya URA.

Yalabudde nti singa Gavumenti eremerako n'ereeta omusolo guno, abasuubuzi bagenda kutandika okutereka ssente mu nsuwa kuba banyigiriziddwa ekimala. "kye ndaba wandiba nga waliwo abantu abakolerera okugwa kwa Gavumenti nga bagisekeeterera okuva munda mu yo. Ku bizibu abantu bye balimu tosobola kuleeta musolo gwa kika kino," Kayondo bwe yalabudde.

Abantu okuvaayo okwemulugunya kyaddiridde amyuka omuwandiisi ow'enkalakkalira owa minisitule y'ebyensimbi, Patrick Ocailap gye yawandiikidde Gavana wa Bbanka Enkulu, Emmanuel Mutebire ng'amusaba ebiwandiiko ebikwata ku ngeri Bannayuganda gye babadde baggyayo ssente ku akawunti zaabwe.

Ebbaluwa eyabaddeko ennaku Abakugu bawabudde ku musolo ku kuggya ssente mu bbanka z'omwezi nga February 9, 2021 yalaze nti baagala okumanya ssente abantu ze baggyayo ku kawunta mu bbanka n'endala nga beeyambisa ATM.

Baasabye okuddibwamu obutasukka February 12, 2021 (Lwakutaano). Ye Sam Muyomba, omwogezi w'abasuubuzi abakolera mu Kikuubo yasabye Gavumenti emanye nti kino bwe kinaakolebwa kijja kunyigiriza abantu abakozesa bbanka naddala abasuubuzi ekiyinza n'okubaviirako obutatereka ssente mu bbanka ekintu ekyobulabe.

"Twagumiikiriza omusolo gwe baateeka ku baggyayo ssente ku mobile money wadde nga zitunyigiriza. Kyokka guno gwo tujja kuguwakanya mu nkola zonna ezisobola ez'amateeka," Muyomba bwe yagambye. Gilbert Sendugwa, omukugu mu byenfuna okuva mu kitongole kya Africa Freedom of Information Centre yategeezezza nti ejja kuba nsobi nnene nnyo singa Gavumenti yeeyisa mu ngeri eno n'etandika okuwooza emisolo ku ssente z'abantu eziggyibwa mu bbanka.

Yawadde Gavumenti amagezi eyongere okubayamba ku ngeri gye basobola okugaziya ennyingiza okusinga okukosa okutereka kuba kyabulabe mu nkulaakulana. Era yannyonnyodde nti eggwanga okukulaakulana kiva ku muntu waabulijjo okukola ssente ne zibeerawo n'abeera ng'asobola okufissaako z'atereka awatali kwekengera kwonna nti zijja kukekejjulwako.

Akulira UBA Bank, Wilbrod Owor yategeezezza New Vision nti baabadde bakyebuuza ku bantu abakwatibwako balyoke bategeeze Bbanka enkulu we bayimiridde ku nsoga eno. Omusolo guno gujja kukosa nnyo abafuna omusaala kuba baba bamaze okusasula PAYE ate ne guno gubeera bagutadde ku ssente ze zimu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts