Saturday, February 13, 2021

Palamenti eyisizza ez'okusasula omugagga w'e Lusanja ne Dodo eyamenya ekkanisa

Palamenti eyisizza ez'okusasula omugagga w'e Lusanja ne Dodo eyamenya ekkanisa

Bya LAWRENCE KIZITO                                                                                                                                          PALAMENTI eyisizza ensimbi obuwumbi 292 n'obukadde 390, okukola ku nsonga ez'enjawulo wakati mu kusika omuguwa okuva mu babaka abamu nga bagamba nti ssente ezimu eziweereddwa minisitule n'ebitongole bya gavumenti zibadde tezisaanidde.

Mu mbalirira yeemu Palamenti yayisizza obuwumbi 7 n'obukadde 670 okuliyirira abagagga Medard Kiconco ne Dodoviiko Mwanje. Kiconco waakufunako obuwumbi 3 n'obukadde 890 ez'ettaka lye eriri e Lusanja ku bbulooka nnamba 206 poloti 671, Lusanja - Mpererwe Wakiso.

Ate Mwanje waakufunako obuwumbi 3 n'obukadde 800 ez'ettaka lye eriri mu Ndeeba awali ekkanisa ya St. Peters eriri ku bbulooka nnamba 7 poloti 39 Mengo - Ndeeba. Minisita w'ebyettaka Beti Kamya yagambye nti ettaka ly'e Lusanja lyakudda mu mannya ga gavumenti oluvannyuma abatuuze abaliriko baweebwe ebyapa.

Ate mu Ndeeba gavumenti ettaka erifunira kkanisa ya Uganda awagenda okuddamu okuzimbibwa ekkanisa eyamenyebwa Mwanje. Okusika omuguwa okw'amaanyi kwabadde ku nsimbi obuwumbi 12 n'obukadde 112 ezigenda mu Uganda Land Commission okusasula abantu mukaaga gavumenti be yatwalako ettaka lyabwe.

Ababaka baategeezezza nti tekyetaagisa kusaasaanya ssente ezo zonna ku bantu mukaaga bokka nga waliyo Bannayuganda bangi ababanja gavumenti. Abantu bano omukaaga kuliko; Kasiya Rwabukurukuru, Stephen Peter Nagenda, Julius Busuulwa, Natalia Namuli, Yisaka Lwakana ne Geofrey Mugisha.

Ettaka lya bano lyonna lisangibwa mu disitulikiti y'e Kibaale okuggyako erya Rwabukurukuru erisangibwa e Sheema. Omubaka Muyanja Ssenyonga (Mukono South) yategeezezza nti e Mukono waliyo abantu ababanja naye tebalowoozeddwaako ne yeebuuza enjawulo ya bano omukaaga ku bantu abalala ababanja.

N'omubaka Muyanja Mbabaali (Bukoto South) yagambye nti e Bukakkata ne Nabugabo waliyo abaatwalibwako ettaka lyabwe naye tebafunanga nsimbi, wadde nga gavumenti yasuubiza dda okubaliyirira.

Nathan Nandala Mafabi (Budadiri West) yagambye nti ensonga bano ze baawadde okusasulwa amangu nnafu nnyo nga kuliko obulwadde n'ekiragiro kya kkooti, bye yagambye nti bangi ababanja nga bali mu mbeera ey'obulwadde abalala nga balina ebiragiro bya kkooti naye tebasasulwanga.

Omubaka Elizabeth Karungi (Mukazi/Kanungu) naye yeebuuzizza enjawulo ya bano omukaaga ku balala ababanja gavumenti nga mwe muli n'abaafiirwa abantu baabwe mu njega ya Kibwetere e Kannungu kyokka tebasasulwanga.

Wano Minisita w'ebyettaka Beti Kamya we yasitukidde n'annyonnyola palamenti nti buli mwaka gw'ebyensimbi Uganda Land Comission eweebwa ssente okukola ku nsonga z'okuliyirira abantu ababanja gavumenti olw'ettaka wabula bano omukaaga baabadde balina okubakolako amangu olw'ensonga ze baawadde ensonga naddala okufuna obujjanjabi era n'agumya nti abalala baakukolwako.

Wabula sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga yalagidde Kamya okuleeta olukalala lw'abantu bonna ababanja gavumenti ku nsonga z'ettaka bateekebwe mu mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogujja kireme kulabika ng'abalondamu abaana n'ebyana.

Kamya yeeyamye okuleeta olukalala luno ng'omwezi guno tegunnaggwaako. Ensimbi endala okwabadde okusika omuguwa bwe buwumbi 33.556 ez'okuweebwa minisitule y'ebyobulamu okugula masiki.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts