ABAKYALA abatunda emmere e Wandegeya balaajanidde Pulezidenti Museveni okuyingira mu mivuyo egiri mu katale kabwe. Bano abaakulembeddwa Aisha Nalukwago ne Benna baalaze okusomoozebwa kwe basanga omuli;
- Obutaganyulwa mu pulojekiti y'okufumbira emmere abamu ku bayizi b'ettendekero (erisomesa emirimu gy'omu mutwe) eryatandikiddwaawo pulezidenti mu katale kabwe .
- Okubaguza amazzi ku buseere ng'ekidomola kigula wakati wa 200 ne 1,000/- (singa wabeerawo ebbula lyago mu katale).
- Ebbeeyi y'emmere gye balumiriza okuva ku 5,000/- (ze baasooka okukkaanyaako ne gavumenti ku buli ssowaani) okutuuka ku 2,000/- ezaagerekeddwa obukulembeze bw'akatale.
- Obutali bwenkanya mu ngabanya y'emidaala gy'akatale kabwe ekivuddeko bamufunampola obutafuna midaala ne giweebwa abagagga.
- Enguzi abasuubuzi gye balumiriza okubeera nga yawaliriza obukulembeze bw'ettendekero lya pulezidenti okukolagana n'obukulembeze obukadde mu nteekateeka y'okuliisa abayizi.
"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale kaffe," Aisha Nalukwago ,omu ku bakyala abatundira emmere mu katale k'e Wandegeya bwe yategeezezza.
Ssentebe w'akatale kano, Issa Ssekimpi n'akulira abakyala, Mai Nabukenya basabye abakyala bano okubeera abakkakkamu okutuusa nga bafunye okwanukulwa okuva mu KCCA gye bagambye nti bagitegeezezza ku nsonga zabwe.
Ate omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwabine yategeezezza nti ensonga z'akatale k'e Wandegeya bazimanyi era essaawa yonna bagenda kutuula nabo bazigonjoole.