By Juliet Lukwago
Abakkiriza bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n'aziikibwa mu Eklezia Lutikko e Lubaga.
Mmisa y'okumujjukira yakulembeddwa omu ku bamyuka ba Bwanamukulu w'e Lubaga, Fr. Kabagira ng'ayambibwako Fr. Henry Mubiru. Fr. Kabagira yategeezezza nti Kiwanuka yafuuka Ssaabasumba ku myaka 39 egy'obukulu.
Ssaabasumba Kiwanuka yazaalibwa Nakirebe abagenzi Victoro Katumba Mundu -kanika ne Felicitas Nankya Namukasa Ssabawebwa nga June 25, 1899, yali ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.
Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga beegattiddwaako ssentebe wa Lubaga Foundation, Dr. Saturninus Kasozi Mulindwa n'abalala ne baganzika ekimuli ku ntaana ye. Ssaabasumba Kiwanuka okusooka yali ateereddwa mu ntaana g'omubiri gwe abajja ku ntaana ye bagulaba naye oluvannyuma entaana yonna n'ezimbibwa