Saturday, February 20, 2021

ABANTU ABAAFIIRIDDE MU KUBUMBULUKUKA KW'ETTAKA BAZIIKIDDWA

ABANTU ABAAFIIRIDDE MU KUBUMBULUKUKA KW'ETTAKA BAZIIKIDDWA

Bya Ali Wasswa 

ABANTU munaana okuli maama n'abaana be basatu abaafiiridde mu kubumbulukuka kw'ettaka baziikiddwa lumu wakati mu kwaziirana okuva mu b'oluganda n'emikwano.  

Nnamutikwa w'enkuba eyatonnye okuva ku ssaawa 6:00 okutuuka ku 8:00 ez'omu ttuntu ku Lwokuna ye yavuddeko ettaka okubumbulukuka amayumba ne gagwa. 

Enjega eno yabadde ku kyalo Kyesika mu ggombolola ye Karungu mu disitulikiti ye Buhweju era awaabadde okuziika ku Lwokuna. 

Jover Kyogabirwe n'abaana be basatu okwabadde;  Timothy Tayebwa 16,  Ana  Karekaho 6, ne  Agnes Akore baafudde lumu ettaka bwe lyagwiridde ennyumba yaabwe n'ebuliramu.  

Abalala kuliko; Teopista Keminagano 80, Specioza Busingye 60, Nkarekaho n'omulala eyategeerekeseeko erya Amanya.  

Denis Kamugisha aduumira poliisi ye Buhweju yagambye nti abantu musanvu baafiiriddewo ate omulala yafiiridde mu ddwaliro lye Bwizibwera Health Centre IV gye yabadde atwaliddwa okufuna obujanjabi.  

Yagambye nti poliisi we yatuukidde mu kitundui ng'ettaka lyamaze okuziika abantu era kye baakoze kwe kusima ne baggyayo emirambo.  

Omubaka we kitundu, Francis Mwijukye yagambye nti yamaze okutegeeza Gavumenti ku byaguddewo n'abasaba okuduukirira abantu abaafunye obuzibu. Ng'oggyeko abaafudde, waliwo n'abalala abali mu malwaliro nga n'ebintu bingi byatwaliddwa amazzi.  

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts