Saturday, February 20, 2021

Abavubi basabye gavumenti ebawole ebikozesebwa

Abavubi basabye gavumenti ebawole ebikozesebwa

Bya TONNY KALYANGO                                                                                                                           ABAKULEMBEZE b'eggombolola y'e Bukakkata e Masaka basabye gavumenti okubateerawo bbanka entonotono ku myalo egy'enjawulo mwe basobola okwewola ssente ku magoba amatono ne bagula ebyetaagisa okukola omulimu gwabwe kubanga bya bbeeyi nga bangi tebabisobola.

Ssentebe w'eggombolola eno omulonde, Aloysious Jjuuko ye yakulembedde abavubi b'omu ggombolola eno nga baasinzidde Kaziru ku mukolo gwe baategese okwekulisa akalulu. Jjuuko yategeezezza nti amagye bwe gajja ku nnyanja gateekawo ebiragiro ebikakali ebyakalubya omulimu guno nga gavumenti y'erina okubayambako ne bamufuna mpola basobole okugusigalamu.

Paul Ssenkumba omu ku bavubi ku mwalo gw'e Bukakkata yategeezezza nti obutimba gavumenti bw'eyagala n'amaato bya bbeeyi nnyo ng'eryato erimu okuliteekako byonna ebyetaagisa okulituusa ku mutindo limalawo ssente ezitakka wansi wa bukadde 15 abasinga ze batalina nga ennyanja eringa esigadde mu mikono gy'abagagga bokka.

Jjuuko yagambye nti singa afuna omukisa okusisinkana Pulezidenti mu lukiiko olusuubirwa okubeera e Masaka agenda akumulombojjera ennaku abantu b'awansi gye bayitamu nabo abakwatizeeko nga bafuna ebikozesebwa basasule mpolampola.

Yayongeddeko nti ekikyayisizza NRM be bantu ab'olubatu abaagala okwefunza ennyanja nga beeyambisa abamu ku b'ebyokwerinda okutulugunya abanaku kye yagambye nti tebayinza kukikkiriza ng'ensonga balina okuzitegeeza abakulu okutaasa NRM.

Bagambye nti nga gavumenti bw'ekwatizaako abakola emirimu emirala ng'okulima n'okulunda ng'ebawa ebikozesebwa nabo basaana okulowoozebwako kubanga omulimu gwabwe gufuuse muzibu. Abavubi balaze okutya nti boolekedde okulemererwa okuzzaayo abaana baabwe ku masomero olw'obwavu obubasusseeko.

Abalala abaayogedde ku mbeera eno baalaze okutya olw'amagye agaakomyewo ku nnyanja newankubadde babadde bafunyeemu akalembereza ebbanga lye gamaze nga tegaliiyo. Baasabye pulezidenti Museveni nga tannakomyawo magye agawe ebiragiro ebikakali obutaddamu kutulugunya basuubuzi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts