Thursday, February 18, 2021

Abasuubuzi bawandiikidde Museveni

Abasuubuzi bawandiikidde Museveni

ABASUUBUZI bawandiikidde Pulezidenti Museveni ebbaluwa emujjukiza okukola ku nsonga ze baamuloopera lwe yabakyalira mu Kampala. Mu bbaluwa baataddemu ensonga 7 ze baagala atandikireko. Baagiwandiise nga January 5, 2021. Mulimu;

1. Okubateekera amasannyalaze ga yaka mu bizimbe by'amaduuka.
2. Obutaddamu kukkiriza kkampuni z'akasasiro kubasolooza ssente ezimenya amateeka.
3. Okukoma ku bagagga abakyasasuza abapangisa kaabuyonjo.
4. URA okubakendereza ku misolo.
5. Okubongerayo ebbanga ly'okubasabirako satifi keeti eraga omutindo (eya PVOC) .
6. Okutuukiriza ekisuubizo ky'okubagulira ettaka.
7. Okubawa ssente z'okwetandikirawo amakolero.

"Twagala pulezidenti asse mu nkola bye yeeyama lwe yatukyalira nga October 5, 2018," ssentebe w'ekibiina kya "UATEA"(omwegattira abasuubuzi abakolera munda n'ebweru
w'eggwanga) ekyawandiise ebbaluwa eno, Edward Ntale bwe yategeezezza.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts