Wednesday, February 17, 2021

▶️ Museveni asabye bannaddiini boogere ne ku b'effujjo

▶️  Museveni asabye bannaddiini boogere ne ku b'effujjo

PULEZIDENTI Museveni asoomoozezza bannaddiini aboogera ku nsobi ezikoleddwa Gavumenti babeere beenkanya, boogere n'ensobi ezikolebwa abooludda oluvuganya.

Yagambye nti takirinaako buzibu okwogera ku bikyamu ebikolebwa Gavumenti, kyokka kibeera kikyamu obutavaayo ng'abawagizi ba NRM mu Kampala bakolebwako effujjo n'okwambulwa engoye.

Museveni yabyogeredde mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe, mu kujjukira nga bwe giweze emyaka 44 bukya Janan Luwum, eyali Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda attibwa nga February 16, 1977.

Ekikolwa kya Pulezidenti Amin okutta Luwum yakivumiridde n'agamba nti takkiririza mu mbeera ya kutta muntu yenna okuggyako alina ekissi ng'abadde akulumbaganye.

"Okutta abantu kibeera kikolwa kya butiitiizi. Omuntu bw'akugamba nti oli mukyamu ng'omanyi okola kituufu, bubeera buvunaanyizibwa bwo okumulaga nti ye mukyamu," Museveni bwe yagambye.

Pulezidenti yagambye nti obulabe bwa Amin baabulabirawo era y'ensonga lwaki bo abamu baatandikirawo okumulwanyisa nga yaakawamba. Olw'okuba ebyobufuzi byali tebitambulira ku mateeka y'ensonga lwaki abantu bangi battibwa.
Kyokka yalaze okutya olwa bannaddiini abalowooleza mu  mawanga n'amadiini n'abalabula nti bandiremwa okuyingira Eggulu.

Kyokka mu kiseera eggwanga lirimu emirembe era wadde nga waliwo abandyagadde okugitabangula, tebalina busobozi, kuba eggwanga lirina eggye ery'amaanyi n'obuwagizi bwa Bannayuganda. Eno y'ensonga lwaki abagezezzaako okutabangula emirembe bonna bafufuggaziddwa.

Pulezidenti yasuubizza nga bw'ajja okuwagira enteekateeka z'okukulaakulanya ekifo kye Mucwini mu disitulikiti y'e Kitgum, Luwum gye yaziikibwa nga bwe yasabiddwa omulabirizi wa Kitgum, Wilson Kitara.

Abakulembeze b'ekkanisa yabasabye baleme kukoma ku kya kubuulira njiri kyokka, wabula bafeeyo okuzimba abantu mu by'omubiri.

            Sssabalabirizi Kazimba

SSAABALABIRIZI ASABYE WABEEWO OBWENKANYA
Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda, Samuel Kazimba Mugalu yasiimye Pulezidenti olw'okutongoza olunaku lwa February 16, okujjukirirako Ssaabalabirizi Janan Luwum. Yamusabye atongoze n'olunaku lwa October 29, kwe battira omulabirizi Hannington mu 1985 e Busoga ng'ajja mu Buganda.

Luwum ye yali Ssaabalabirizi owookusatu eyali atwala ekkanisa mu Uganda, Rwanda, Burundi ne Boga-Zaire.

Kazimba yasabye ebikolwa by'okuwamba abantu bikomezebwe, ebikolwa by'okubuzaawo abantu oluvannyuma abattibwa, okutta aba bodaboda n'agamba nti byonna byetaaga okukomezebwa. Abantu abaasibwa nabo yasabye baleetebwe mu makooti bavunaanibwe.

Ssaabalabirizi yeebazizza Pulezidenti olw'okuvaayo n'agumya eggwanga ku byokwerinda kuba minisita w'ensonga z'omunda Gen. Jeje Odongo yali yeewanisizza abantu emitima bwe yagamba nti waliwo abaabula be batamanyi gye bali. Yasiimye obuyambi obwaweereddwaayo Gavumenti okusobola okuzzaawo Ekkanisa y'omu Ndeeba eyamenyebwa.

Omulabirizi Polof. Alfred Olwa, owa Lango yagambye nti ekyattisa Luwum kwali kwogera mazima ku byali bitatambula bulungi mu ggwanga. Kyokka yalaze essanyu olw'okuba nga Luwum yakkiriza okufiira mu linnya lya Yesu.



Yagambye nti ababuulizi b'enjiri okwali Lubulwa eyava e Mityana be baabuulira bazadde ba Luwum enjiri ne basobola okusembeza Yesu. Yasabye abantu okwenenya, okusonyiwa n'okutereeza ebyasoba.

Ku bantu abaasembebwa Luwum okuyingira obuweereza kuliko Ssaabalabirizi eyawummula, Luke Orombi ne Ssaabalabirizi John Ssentamu ow'e New York eyawumudde.

Omulabirizi Wilson Kitara ow'e Kitgum yayozaayozezza Pulezidenti Museveni olw'okuddamu okulondebwa okukulembera eggwanga.

Okuva mu 2015 olunaku lwa Luwum we lwatongezebwa ng'olunaku lw'eggwanga, abalamazi okuva mu nsi yonna babadde beekuluumulula buli mwaka okugenda e Kitgum gye yaziikibwa. Olwokuba nga Luwum yali atwala ekkanisa mu Uganda, Rwanda, Burundi ne Boga-Zaire, abantu baasabiddwa okusabira emirembe ne mu nsi ezituliraanye zibeeremu emirembe.

Omukolo gwetabyeko mukyala Janet Museveni, Ssaabalamuzi eyawummula Bart Katureebe, Jacob Oulanyah amyuka Sipiika Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, Esther Mbayo minisita w'ensonga z'Obwapulezidenti, Fr. Simon Lokodo minisita w'empisa n'obuntubulamu, Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba, n'abalala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts