Friday, February 12, 2021

Abatuuze be baasendedde emmere basattira

Abatuuze be baasendedde emmere basattira

Bya Eric Yiga                                                                                                                                                                Abatuuze b'e Bwanga mu Town Council y'e Katosi mu disitulikiti y'e Mukono basattira oluvannyuma lw'omugagga ayagala okuzimba essomero n'eddwaaliro mu kitundu kino okwekobaana ne ssentebe waabwe Chrizstom Ssebandeke ne basenda emmere, emiti n'ebibanja byabwe.

Omusajja ng'alaga emmere ye gye baasenze.

Abamu ku batuuze abakoseddwa kuliko: Victoria Mukasa, Ken Ngobi, Sarah Katushabe, Chrizstom Kazibwe n'abalala. Bagamba nti omugagga ono yaleese ttulakita okugaziya ekkubo ne basenda emmere yaabwe nga tebabatemezzaako nga kati baagala babaliyirire ebintu byabwe ebyayonooneddwa.

Ye ssentebe Chrizstom Ssebandeke yegaanyi eky'okwekobaana n'omugagga n'agamba nti ekituufu baamutegeezaako nga bwe bagenda okujjuza ebinnya mu kkubo lino kyokka  nga tamanyi nti bagenda kutwaliramu n'emmere y'abatuuze.

Abatuuze abaakoseddwa baagala omugagga abaliyirire.

Ye looya w'omugagga ono, Charles Majoli obuzibu obutadde ku ssentebe w'ekyalo gw'agambye nti baamutegeezaako byonna bye baali bagenda okukola n'atategeeza batuuze kyokka n'agamba nti bagenda kutuula n'abakoseddwa babasasule.

Ye omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino Hajjati Fatumah Ndisaba Nabitaka ategeezezza nga bwamaze okwogerezeganya n'aba famire ya Nabeeta basasule abakoseddwa, kyokka nalabula abagagga abaleeta pulojekiti mu kitundu okukolagana n'abantu be basanze ku byalo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts