Friday, February 12, 2021

Sheikh Mubajje asindise bamaseeka okugonjoola obukulembeze bwa Khadhi w'e Mukono

Sheikh Mubajje asindise bamaseeka okugonjoola obukulembeze bwa Kaazi w'e Mukono

MUFUTI wa Uganda, Sheikh Ramathan Shaban Mubajje asindise olukiiko lwa bamaseeka e Mukono okunoonyereza ku butakkaanya obuliwo mu Basiraamu, batuuke n'okuggalira Khadhi waayo, Sheikh Saziri Lumala ku poliisi ne bamuvunaana ekyalabisa obubi ekifaananyi ky'Obusiraamu.

Ekibinja ekyavudde ku kitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde kyakulembeddwa Sheikh Mustafa Amisi Lule khadhi wa East Buganda etwala Disitulikiti 10 okuli Mukono, Kayunga, Buikwe, Luweero, Nakaseke saako Buvuma. Endala kuliko Nakasongola, Kyankwanzi,Wakiso ne Kiboga eyategeezezza olukiiko lw'abakulembeze b'e Mukono nti waliwo Abasiraamu b'ataayatuukirizza mannya, abaatwala  ensonga zaabwe  eri olukiiko lwa Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) nga beemulugunya enkola y'emirimu etagenda bulungi okuva mu ofiisi ya Khadhi w'e Mukono, Saziri Lumala.

Bukedde yatuukiridde abawakanya obukulembeze bwa khadhi Lumala bagamba nti baagala aggye ofiisi ye ku muzikiti gw'e Mukono agitwale ku kitebe e Kiyunga awali ekitebe ky'obwa Khadhi olwo awali ofiisi ye bazzeewo ennyumba ya Imaamu. Balumiriza khadi Lumala okwefuga ofiisi zombi okuli eya Imaamu n'eya Khadhi ng'amakanda yagasimba ku muzikiti kye bawakanya. Olukiiko olwetabiddwaamu abakulembeze b'Obusiraamu e Mukono lwategekeddwa Sheikh Muhamed Senfuka khadi w'ekibuga ky'e Mukono nga lwabadde ku muzikiti gwa Mukono Central, Masgid Atiq.

[image_library_tag 652f5b75-23ee-4fe5-81de-b9139946b7f3 703x467 alt="Abakulembeze b'Abasiraamu e Mukono okuli Disitulikiti Khadhi, Saziri Lumala n'abakulembeze abaavudde e Kampalamukadde okwabadde Khadhi wa East Buganda, Mustafa Amiisi (owookuna ku ddyo) ne Haji Twaha Gwaivu (owookusatu ku ddyo) abazze okutabaganya Abasiraamu e Mukono. Baabadde ku muzikiti gwa Mukono Central." width="703" height="467" ]
Abakulembeze b'Abasiraamu e Mukono okuli Disitulikiti Khadhi, Saziri Lumala n'abakulembeze abaavudde e Kampalamukadde okwabadde Khadhi wa East Buganda, Mustafa Amiisi (owookuna ku ddyo) ne Haji Twaha Gwaivu (owookusatu ku ddyo) abazze okutabaganya Abasiraamu e Mukono. Baabadde ku muzikiti gwa Mukono Central.

Sheikh Lule yagambye nti bye baazudde agenda kubyanjula eri Mukama we era bye bagenda okwesigamako okugonjoola obutakkaanya obuliwo mu Busiraamu b'e Mukono enjuyi zombi zisobole okwegatta kibasobozese  okuleeta  enkulaakulana.

Ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa East Buganda, Hajji Twaha Gwaivu yakuutidde Abaganda bakomye okwesiba e Kibuli wabula bakomewo eka ku UMSC kubanga we wali ekisumuluzo kya buli nkulaakulana n'abajjukiza nti bakyalina  ebifo bingi eby'emirimu egyenjawulo egirindiridde Abaganda kubanga kye kitundu ekisinga.okubaamu ba Imaamu ne bamaseeka abasinga obungi.

Ye Khadhi Lumala yagambye nti  talina buzibu na muntu yenna n'abasaba okumwegattako bakulaakulanye Obusiraamu

Omwaka oguwedde Khadhi Lumala yakwatibwa poliisi n'aggalirwa mu kaduukulu ka poliisi e Mukono  n'aggulwaako omusango gw'okumenya ofiisi egambibwa nti yali yiye mu ngeri y'okugyeddiza era okuva olwo wabaddewo enjawukana ezaatuuse okuleeta abakulembeze bano okuzigonjoola. 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts