Bya TONNY KALYANGO
ABAVUBI ku myalo egy'enjawulo mu disitulikiti y'e Masaka bakyalina okutya olw'ebyennyanja ebyongera okufa ekirindi. Basabye abakugu mu gavumenti okwongera okunoonyereza ekituufu ekiviirako ekizibu kino ate n'okukitangira kubanga omulimu gwabwe gwolekedde okuggwaawo.
Bano ku myalo okuli Kaziru, Bukakata, Lambu mu ggombolola y'e Bukakata n'emirala bategeezezza nti newankubadde ebyenyanja bitera okufa buli mwaka naye embeera eno babadde tebagirabangako ng'ekika ky'ebyennyanja kimu kye kifa mu kirindi. Baagasseeko nti okunoonyereza okwakolebwa kw'alaga nti tebifa butwa naye ekituufu ekibitta tebannakimanya.
Bino babitegeezezza abavunaanyizibwa ku by'envuba n'ab'ekitongole ky'obutonde bw'ensi okuva ku disitulikiti ababadde banoonyereza ku mbeera eno wetuuse ku myalo gy'e Masaka .
Moses Ssekabira omuvubi ku mwalo gwe Kaziru agamba nti okuva kino lwe kyatandika ebyennyanja bye bakwata byakendeera ekibatadde mu kutya okwamaanyi kubanga tebakyayingiza ssente ng'abagagga amaato b'agawummuza ekibatadde mu mbeera enzibu naddala ng'abaana baabwe bagenda kukola bigezo ng'ate abalala badda mu ssomero.
Yayongeddeko nti newankubadde abakugu bakkirizza abantu okulya ebyenyanja bino naye balina okutya kungi kubanga waliwo n'ebyo byebakwata nga tebinnafa naye olufa bifuuka langi ate nga biwunya nnyo nga nebwebabikalirira tebifaanana byenyanja by'abulijjo.
Rashid Babu akulira kkampuni ya Mpongo evunaanyizibwa ku mwalo gwe Lambu yategeezezza nti nabo bakyasobeddwa kubanga tebannamanya kituufu kyokka ng'okufiirizibwa kw'amaanyi nnyo kubanga eby'ennyanja tebikyafa nga ne bannannyini maato bangi baagasimba nga tebakyagenda mu nnyanja.
Akulira eby'envuba ku disitulikiti, Moses Ssemambo yagumizza abavubi nti kino kigenda kuggwaawo kubanga ekivuddeko ekizibu okuli okukendeera kw'omukka gw'obulamu ekigambibwa nti kye kivaako ebyenyanja okuziyira kigenda kuggwaawo kubanga ebiddo ebiri ku mazzi biri mu kuvunda.