Bya John Bosco Sseruwu
ABASAABAZE abasoba mu mukaaga basimattuse okufiira mu kabenje ttakisi mwe babadde bw'ebuseeko omupiira ne yeevulungula emirundu egiwera.
Bino bibadde Lukaya e Kalungu ku luguudo lwa Kampala-Masaka nga ttakisi eno nnamba UBD 153X ebadde eva mu bitundu by'e Ssembabule okwolekera Kampala okusinziira ku ddereeva waayo Yasin Kimbugwe.
Ono annyonnyodde nti akomye okutegeera ng'alaba omupiira gw'omu maaso gubuuseeko ku mmotoka eno nga gumukulembedde gwevuga. Agenze okuddamu okutegeera ng'abadduukirize babasikamu ng'emaze okugwa wabula bonna tewali afunye kisago ky'amaanyi.
Poliisi y'ebidduka e Lukaya emmotoka eno egisise ate abasaabaze ne bafuna endala ne beeyongerayo n'olugendo.