Tuesday, February 2, 2021

Abawambibwa e Masaka babakuumira mu bbalakisi e Kasijjagirwa

Abawambibwa e Masaka babakuumira mu bbalakisi e Kasijjagirwa

 Jamir Walugembe, Ssentebe w'ekyalo Kimaanya mu Masaka yagambye nti, ku Lwokubiri nga January 19, yali ava kuziika n'asalawo okubeerako n'abatuuze bwe bazannya ku ‘draft' abajaasi we baatuukira ne batandika okubagoba okubakwata.

Richard Ssempijja

Yagambye nti, bajja bagamba ‘baabo baabo' abaadduka n'agwa ne bamukuba kibooko. Yadduka kiwalazima n'ayingira akalwaliro kyokka nayo ne bamulumbayo ne bamukubirayo ne bamutwala ku kabangali y'amagye ne bamukuba oluvannyuma ne bamuggyako ne bamutwala munda.

Yagambye nti, baamukuba nnyo ne bamumenya omukono gwa ddyo nga bwe bamugamba ‘okuze vva mu bintu' ne bamuvuga ne bamutwala mu bbalakisi e Kasijjagirwa gye baamusibira. Yagambye nti, kye yasanze mu bbalakisi yabadde tayinza kukikkiriza, munda mulimu obusenge mwe basibira abasibe buna buli kamu kaliko ffuuti nga 15 kyokka we baamutuusiza, bwonna bwali bujjudde abantu be yagambye nti, teyabeetegereza.

Robert Ggita omusuubuzi mu Masaka baamuggya ku dduuka lye mu Kimaanya ne bamutwala taddangamu kulabika.

"Banteeka mu kange nzekka naye obulala bwali bujjudde." Walugembe bwe yagambye. Yagambye nti, oluvannyuma baamuggyayo ne bamutwala mu ddwaaliro gye yava oluvannyuma n'addayo mu maka ge wabula yafunye obulemu ku mubiri, omukono gwe ogwa ddyo tegusobola kusitula kintu kyonna.

Ne David Lule Bwanika amanyiddwa nga Selector Davie, yayimbuddwa oluvannyuma lw'ennaku 15 ng'akuumirwa mu kaduukulu k'amagye e Makindye. Okumuyimbula n'abalala abasoba mu 40, baabatutte mu kkooti y'amagye e Bombo ku Lwokuna.

Sula Kiwanuka muzzukulu wa Betty Nakabbo ow'e Buyuki mu Mukono yabuzibwawo ne banne okuli Juma Mukasa ne Joseph Kyakuwa.

BAATUSABYE SSENTE OKUMUYIMBULA; Quraish Tamale 35, ow'e Kayirikiti e Masaka, yatwaliddwa abasajja abaabadde mu Drone enzirugavu. Kitaawe, Yusufu Njako yagambye nti, mutabani we baamuggya mu bbajjiro ng'akola ne bamusambasamba ne bamutwala n'abalala bana wabula omu ne bamuta era ye yabagamba nti, baabatutte Kasijjagirwa mu bbalakisi.

Musa Male ow'e Buntaba, yatwalibwa December 22 era taddangamu kulabika.

Yagambye nti, baabakubira essimu nga bamaze okumutwala n'ayogerako ne mukazi we abaamutwala ne basaba babaweereze ssente 100,000/- bamute wabula bwe yaziteekako, tebaamuyimbula era ne bagaana n'okuddamu okukwata essimu.

AB'E MUKONO BABIYINGIZZAAMU MINISITA KIBUULE:                                                                             Ffamire z'abantu abawambiddwa e Mukono, balumiriza minisita w'ebyamazzi, Ronald Kibuule okubeera emabega w'okuwamba abantu baabwe.

Abanoonyezebwa e Mukono kuliko; Twaha Kagimu, Julius Kiberu, Karim Muganga, Richard Ssempijja , Ivan Augustine Kamira ab'e Kabembe, Musa Male ow'e Buntaba, abooluganda Sula Kiwanuka, Juma Mukasa ne Joseph Kyakuwa ssaako abooluganda Isma Ssenkubuge ne Stephen Ntulume ab'e Katoogo, Mohammad Kanatta ow'e Walusubi n'abalala.

Frank Sserunjogi 32, eyakazibwako erya Ssaalongo naye akyanyiga biwundu. Sserunjogi agamba nti, yawambibwa nga November 21, 2020 era abaamuwamba, baali mu mmotoka kika kya Toyota Hiace UAK 361J.

Baamusanga mu maka ga Abudallah Kiwanuka Mulimamayuni, eyawangudde ekifo ky'omubaka wa Mukono North. Yagambye nti, baasooka kukwata munne Isma Mwanjaazi era bwe baali bamutwala n'amuyita amuwe essimu ye bwe yagikima naye ne bamukwata.

Yagambye nti, baamukuba ne bamusiba emiguwa ne bamuteeka mu mmotoka ne bamutwala mu kikomera mu maka ga Kibuule gye baamutulugunyiza oluvannyuma ne bamusuula ku poliisi y'e Mukono. Eno gye baamuggya ne bamutwala ku poliisi ya Jinja Road gye basooka okumusibira nga tebannamuweereza Naggalama.

Bw'anyumya bye yayitamu, Sserunjogi akaaba n'amaziga, agamba nti, yasiiba njala oluvannyuma ne bamutwala e Naggalama gye yava ne bamutwala mu ddwaaliro lya Gavumenti e Mukono wabula ebbanga lye yamalayo, teyafuna bujjanjabi bwonna. Yagambye oluvannyuma yaggyibwayo ne bamuzzaayo e Naggalama gye baamusibira nga tannatwalibwa mu kkooti e Mukono omulamuzi gye yamusindikira mu kkomera e Kauga gy'amaze omwezi mulamba.

Ekuba omunaku tekya, agamba olunaku lwe baamuyimbula ku kakalu ka kkooti, aba yaakatuuka awaka ku kyalo Buntaba, ne wabalukawo olutalo wakati w'abatuuze n'abawagizi ba Hajji Haruna Ssemakula abaali baagala okutimba ebipande ku nnyumba y'omutuuze ku kifuba.

Mu kavuvungano, agamba abatuuze baayoca emmotoka ya Ssemakula eyali etambuza ebipande ne basindika amagye ku kyalo ne baddamu ne bamukwata ne bamuteeka mu mmotoka eyali eyokeddwa mwe yasanga abakubi b'embooko ne bamudda mu biwundu.

"Baatutwala mu kkooti omulamuzi n'asaba 300,000/- okutuyimbula nga teziriiwo n'atusindika mu kkomera e Nakifuma gye nnamaze wiiki endala bbiri n'ennaku ssatu ne nyimbulwa ku kakalu ka kkooti." Sserunjogi bwe yategeezezza. Kibuule gwe balumiriza okubeera emabega w'okuwambibwa kw'abantu e Mukono bwe yatuukiriddwa yagaanye okubaako kyayogera ku nsonga eno.

BAZE BAAMUTWALA KATI OMWEZI MULAMBA; Mayimuna Nanteza 23, bba Musa Male 27, yatwalibwa December 22, 2020 ku ssaawa 1:00 ey'ekiro. Abaamutwala baali mu mmotoka ekika kya Drone enjeru bbiri, baabakonkona ne basooka bagaana okuggulawo ne babagamba nti bagenda kukuba ttiyaggaasi mu nnyumba olwo omukyala kwe kuggulawo.

Baayingira nga bba yeekwese mu kinaabiro ne bamukwata ne bamukuba ne bamutwala. Yaggulawo omusango gw'okuwamba bba ku poliisi y'e Naggalama ku ffayiro SD 26/26/12/2020 ne ku poliisi ya Jinja Road.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts