Tuesday, February 2, 2021

Barbie Kyagulanyi muka Bobi Wine agenze mu Amerika

Barbie Kyagulanyi muka Bobi Wine agenze mu Amerika

By Charles Etukuri

Barbie Itungo, mukyala wa Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine agenze mu Amerika. Itungo okugenda yayise ku kisaawe e Ntebe ng'akozesa ennyonyi ya Qatar ku Mmande olweggulo.

Okusinziira ku kkamera z'oku kisaawe e Ntebe zaalaze Barbie Itungo ng'awaayo ebimwogerako nga tannaba kulinnya nnyonyi kyokka okugezaako okwogera n'abakungu b'ekibiina kya NUP tekyasobose.

Okugenda kwa Barbie kuzze nga waakayita wiiki ssatu ng'abaana baabwe bamaze okubaweereza mu Amerika. Kiddiridde Kyagulanyi okulumiriza ebitongole beebyokwerinda okwagala okutuusa obulabe ku baana baabwe n'abamu ku booluganda lwe.

Kyagulanyi yawanguddwa Pulezidenti Yoweri Museveni owa NRM  gw'abadde attunka naye mu kulonda okwabaddewo nga January 14, 2021. Kyokka Kyagulanyi yawakanyizza ebyavudde mu kulonda era w'osomera bino yamaze dda okugenda mu kkooti ng'awakanya obuwanguzi bwa Museveni.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts