ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini kiraabu ya Ambiance e Nakulabye ne Masaka, era nnannyini kkolero lya Ambiance Waragi e Kibuye olw'okuteeka ekkolero erisala embaawo mu kitundu omusula abantu eribaleekaanira emisana n'ekiro nga libamazeeko emirembe.
Abatuuze bagamba nti, omugagga Kiyimba okuteeka ekkolero mu kitundu yakola kikyamu, kubanga kino kitundu kya kusulamu ssi kya bannamakolero. Bagamba nti emyezi ebiri egiyise bukya Kiyimba ateeka kkolero mu kitundu kyabwe, tebakyebaka tulo, ebyuma bisiiba bireekaana ate ne bimala matumbi budde.
Abatuuze bagamba nti bagattako n'empumbu eva mu miti egisalibwa efuumuuka mu bbanga okubaggweeramu n'okugwa mu mmere kye bagamba nti kya bulabe ekiyinza okubaviirako okulwala kkansa.
Baavudde mu mbeera bwe balinze omugagga Kiyimba mu lukiiko lwe baategese ng'abasuubizza okubaawo kyokka ne ziwera ssaawa 12 ez'olweggulo nga talabikako.
Kino kyabawalirizza okulumba ekkolero lye okulabula abakozi ku kuleekanya ebyuma.
Baatabuse ne boogerera ssentebe w'ekyalo, Francis Bbaale ebisongovu bwe yabadde agezaako okuwolereza Kiyimba nti, bamuwe obudde bw'ayagala aggyewo ekkolero lye nga bagamba nti ssentebe ono baamusaba dda okuwandiika ebbaluwa bagyongereyo waggulu kyokka n'agaana nga yeekubira ew'omugagga.
Haji Suleiman Ssendikwanawa, aliraanye ekkolero lino agamba, "eby'okwebaka baabivaako era tetukyalina mirembe waka waffe olw'okuwoggana kw'ebyuma okuva mu kkolero. Buli bwe bateekako
ebyuma, ennyumba ne zitandika okujugumira nga ziringa awaliwo musisi ayita.
Ekitundu kyaffe kya kusuulwamu, si kya makolero.
Tumusaba akyuse wano waakiri azimbewo amayumba, naye ekkolero alitwale awalala. Ekisinga okutunyiiza, mwami Kiyimba buli bwe tumuyita mu lukiiko atugamba nti ajja kyokka n'atalabikako, naffe obugumiikiriza butuweddeko olw'okunyigirizibwa kwe tufuna ku kkolero lye."
Francis Bbaale, ssentebe wa zooni ya Kweba e Mutundwe awasangibwa ekkolero: Kiyimba njogera naye, yantegeeza nti, mu bbanga eritasukka mwaka agenda kunoonya ettaka awalala atwale ekkolero, naye nange anneewuunyizisizza, buli abatuuze bwe bagamba okumusisinkana tajja. Sirina kkobaane na Kiyimba nga bwe bakinteekako naye nange ng'omuntu sirina buyinza bumugobesa kkolero ku kyalo.
Oluvannyuma mukyala wa Kiyimba abadde yeewala ab'amawulire yazze okwogerako n'abatuuze abaabadde basazeeko ekkolero lyabwe. Yabasabye babaweeyo ebbanga lya mwaka gumu banoonye ettaka eddala we batwala ekkolero.
Kino kyayongedde okutabula abatuuze, ne bagamba nti muka Kiyimba abalaatira mu bulamu bwabwe, ne bategeeza nti tebakyasobola kukigumiikiriza wadde omwezi ogumu.
Oluvannyuama yakkakkanye n'abategeeza nti balina olumbe lwe bategeka, babaweeyo wiiki emu addeyo ayogere ne bba balabe eky'okukola.
Abatuuze kino bakikkirizza ne bategeeza nti ssinga ebbanga lya wiiki liggwaako ne watabaawo kikolebwa, olwo nabo ng'ensonga bazongerayo mu mateeka galamule.