Thursday, February 25, 2021

Balaajanye ku ky'okwerula ensalo za Nakawa

Balaajanye ku ky'okwerula ensalo za Nakawa

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y'e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y'e Nakawa mu bwangu okugonjoola okusika omuguwa okuliwo n'ebitundu eby'enjawulo by'esalagana nabyo.

Baabadde mu lutuula lwa kkanso olwayitiddwa sipiika, Moses Mubiru okutema empenda okugonjoola obutakkaanya obuliwo wakati wa munispaali y'e Nakawa n'ebitundu ebimu ebya Wakiso. Deborah Katabalwa kkansala omukyala ow'omuluka gwe Banda yagambye nti ensonga eno yeetaaga okukolwako mu bwangu kubanga kizibu kyamaanyi mu Banda nga bakaayanira ensalo wakati waabwe ne Munisipaali y'e Kira.

Ate Simon Barigo kkansala wa Naggulu I yagambye nti zzooni ezimu mu Nakawa nnene nnyo nga zeetaaga kusalibwamu. Town Clerk wa Nakawa, Denis Omodi yawabudde bakkansala nti ensonga eno baagyanjulayo dda mu bakungu abakwatibwako omuli ne minisita w'ebyettaka era ekolwako. Balimwezo yasabye Gavumenti ekole ku nsonga eno kuba kibafiirizza omusolo mungi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts