EKIBINJA ky'abavubuka ababadde batambulira ku bodaboda nga babagalidde emiggo bazinzeeko ebyalo ne bakuba abantu emiggo n'ekigendererwa ekitannategeerekeka ne babaleka nga banyiga biwundu.
Obulumbaganyi buno bwakoleddwa Kabuusu mu munisipaali y'e Lubaga ku byalo bibiri okuli Lule ne Musigula ku ssaawa 3:00 ez'ekiro ku Lwokuna.
Atwala ebyokwerinda mu Musigula nga y'omu ku baatusiddwako obulabe mu bulumbaganyi buno yagambye nti, zaabadde ssaawa nga 3:00 abavubuka abaabadde batambulira ku bodaboda ezisoba mu mukaaga nga bazituddeko basatu basatu nga bakutte obubaawo ne basalako akatawuni kaabwe ne batandika okubakuba nga buli gwe bayitako awatali kubabuulira kibakubya era naye mwe baamukubidde.
Amil Katongole akola obwamakanika mu kitundu yakubiddwa katono eriiso lya kkono liveemu.
Yagambye nti, yabade atudde munda mu kayumba we yabadde anyweera caayi, yagenze okuwulira ng'emiranga giri ku kkubo kwe kuvaayo alabe kyokka yabadde yaakajjayo omutwe, yagenze okuwulira nga waliwo ekimukuba ku mutwe era teyazeemu kutegeera. Agamba nti olwazze engulu ne bamunnyonnyola naye ng'abavubuka bamaze okugenda.
Ssentebe wa Lule zooni Justus Agaba yagambye nti, kuliko omutuuze eyabadde alaba ebigenda mu maaso eyamukubidde n'amutegeeza ebyabadde bigenda mu maaso naye kwekubira poliisi y'e Lubaga ku Kkanisa kyokka ebyembi wadde abasajja bano baatutte kyenkana essaawa nnamba nga bakuba abantu, poliisi we yatuukidde nga bamaze okulinnya ppikippiki zaabwe nga beeyongeddeyo.
Agaba yategeezezza nti, abatuuze abasoba mu 10 be baalumiziddwa era n'ategeeza nti mu kiseera kino, abatuuze bali mu kutya olw'obutamanya bigendererwa by'abantu abaakoze obulumbaganyi buno kubanga singa baabadde babbi nga bazze kubba bandibadde baliko bye baatutte ku be baakubye naye tewali kye baatutte.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owesigyire yategeezezza nti, poliisi eriko abavubuka basatu be yaakakwata ku byekuusa ku bulumbaganyi buno nga waliwo ne ppikippiki eziteeberezebwa okukozesebwa mu bulumbaganyi buno ezinoonyezebwa.
Owesigyire yagasseeko nti, poliisi yagudde dda mu lukwe lwa bakifeesi bano abatambulira ku bodaboda nga babba abantu n'okubakuba nga baliko n'ebifo ebirala bye baakozeko obulumbaganyi nga Bakuli n'ategeeza nti batandikiddewo okukola ebikwekweto ku bodaboda zonna ezikola okusukka essaawa 1:00 kubanga ze ziyambako bano okutuukiriza ebikolwa byabwe.
Source