Sunday, February 21, 2021

Ntagali bye yateesezza ne Pasita Kayiwa ku biriwo

Ntagali bye yateesezza ne Pasita Kayiwa ku biriwo

DR. Kayiwa yategeezezza Bukedde nti kituufu yabadde ne Bp. Ntagali era n'amusabira
okuyita mu bizibu by'alimu.

Nnamusomedde Isaaya essuula 61nti, "Yajja okuyamba, okukkakkanya emitima egirina obulumi".

Ntagali nnamusisinkanye mwennyamivu olwa banne okumulyamu olukwe. Ekikulu Ntagali yeetaaga kuzzaamu mmaanyi. Ogwo gwe mulimu gwaffe ng'Abasumba.

Omuntu kasita yeenenya, teyandyetaaze kwogerako bibi. Ntagali yeenenya era kikyamu ekyo okukifuula oluyimba.

Essaawa eno Ntagali yeetaaga kukwatirako kumusabira. Sisalira muntu musango ky'ova olaba Omusumba Kiwedde Muwanguzi nnamusabidde. Nnagenda n'ewa Pasita Augutine Yiga ow'e Kawaala okumusabira kubanga omuntu abantu gwe balaba ng'omubi ate Katonda si bw'amulaba.

                Ntagali (ku Kkono) Ne Pasita Kayiwa.

Yesu yennyini yabuuza abaali baagala okukuba omukyala amayinja nti, atakikolangako y'aba asooka, bonna ne bavaawo. Tetulina kusalira bantu misango.

Oluvannyuma lw'okusisinkana Ntagali, Kayiwa yatadde ekifaananyi kyabwe ku mukutu
gw'ekkanisa ye ogwa "social media".

Kayiwa agamba nti Ntagali yasobeddwa bwe yalabye ensonga ze nga zisaasaanye mu mawulire. Yali alowooza nti ensonga zijja kukolwako era ziggwe mu bitongole by'ekkanisa.

Ensonga za Ntagali ziyinza kufunzibwa mu kigambo kimu era naye Ntagali yakiddinganye nga tusisinkanye. Ekigambo kya Lungereza "betrayal" ekitegeeza okulyamu munno olukwe.

"Nnamugambye bingi okuli enjigiriza ya Yesu okusonyiwa n'okuzza abantu mu kkubo ettuufu kubanga Bayibuli egamba nti mu Zabuli 23 nti "akomyawo emmeeme yange". Noolwekyo omuntu bwe yeenenya n'adda eri Mukama amusonyiwa ne biggwa."

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts