Tuesday, February 23, 2021

Amyuka RDC w'e Kasangati agumizza abatuuze ku kibbattaka

Amyuka RDC w'e Kasangati agumizza abatuuze ku  kibbattaka

Bya Moses Nyanzi 

OMUMYUKA wa RDC w'e Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba  agumizza abatuuze ku kibbattaka ekikyaase mu bitundu ebyenjawulo gy'atwaala nga bwagenda okukirwanyisa okulemesa abagagga abaaliisa abanaku akakanja nga babasindiikiriza ku bibanja byabwe nga tebaweereddwa bwenkanya olw'okukozesa ssente.

"Nze nasindikiddwa gyemuli kubakolera era ofiisi nzigule ababadde beekomya ettaka ly'abanaku nga mwesiga ssente bubakeeredde. Njagala n'abanaku bafune obwenkanya nze kye kyandeese, njagala tukolere wamu kuba sazze kusosola mu nzikiriza za ddiini, ez'ebyobufuzi yadde eggwanga kuno kwossa abanaku abamaliddwako abagagga eddembe".

Bino Jjemba yabituuseeko oluvannyuma lw'ekitambiro kya Mmisa ekyayimbiddwa Rev Fr. Richard Seremba, eri Abakristu b'ekisomesa ky'Omutukuvu Lukka Baanabakintu e Nangabo mu Parish ya Kitagobwa, mu kulambula kwe yatandise abantu okumumanya naye okubamanya ssaako okumanya ekitundu ky'atwala.

Abakristu nga basaba RDC Jjemba ennamba y'essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.
Abakristu nga basaba RDC Jjemba ennamba y'essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

Yagambye nti ekisingira ddala okuba ekizibu mu kitundu kino kye kibbattaka ng'abagagga banyigiriza abaavu okubagobaganya ku ttaka lyabwe nga tebawereddwa bwenkanya kye yavumiridde era ne yeewerera abagagga bano  okumwerinda.

Ng'abuulira, Fr. Seremba yakkaatirizza obukulu bw'abazadde okukuliza abaana mu ddiini nti kino kyakuyamba eggwanga ery'omu maaso okubeera n'abakulembeze abalimu ensa.Yasabye abantu okukuuma emirembe n'okwagala ensi yabwe, era ng'okulambula kuno yagambye nti agenda kukutwala mu maaso ng'asisinkana abakkirizza mu nzikiriza ezenjawulo n'abakulembeze b'ebitundu ebyenjawulo.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts