Tuesday, February 23, 2021

Ab'amasomero ga nassale ensonga bazitutte wa Sipiika

Ab'amasomero ga nassale ensonga bazitutte wa Sipiika

Bya LAWRENCE KIZITO                                                                                    

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nsonga z'abaana ekya Early Childhood Development Association kiraze obutali bumativu olwa Gavumenti okulwawo okuggulawo amasomero ga Nassale kye bagamba nti kikosezza nnyo abakyala naddala mu byenfuna.

Bino bibadde mu kiwandiiko kyabwe kye bakwasizza Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga gwe basisinkanye mu ofiisi ye ku Lwokubiri ne basaba Gavumenti ekkirize okusisinkana abantu bonna abakola ku nsonga z'abaana esobole okuwulira eddoboozi lyabwe, ekole okusalawo okutuufu.

Ssentebe w'ekibiina kino, Manuella Mulondo ategeezezza Sipiika nti abakazi be basinga okukola mu masomero ga Nassale nga n'olwekyo tebakyalina mirimu. Ate n'abakazi abalala abeekolera nabo kati emirimu baagisuddewo ne badda mu kulabirira abaana baabwe kubanga amasomero agalabirira abaana mwe baabalekanga maggale.

Alaze obweraliikirivu nti ssinga embeera egenda bweti, sbakazi bandidda emabega gye baali emyaka 40 egiyise. Ye Estella Kabagaya eyali alabirira abaana b'abakazi abakola mu katale k'e Wandegeya agambye Sipiika nti abakazi b'omu butale tebakyasobola kukola kubanga abaana babataataaganya era baasazeewo kusigala waka nga balabirira abaana.

Awadde eky'okulabirako nti Abakazi abafumba emmere e Wandegeya abamu okukola baakuleka kubanga tebasobola kubeera na baana mu muliro we bafumbira, ekintu kye yagambye nti kyakuleeta obwavu mu maka ekinavaako okulinnya kw'obutabanguko mu maka.

Sipiika Kadaga asiimye abakyala bano olw'okumuggula amaaso n'agamba nti yasaba dda gavumenti okutunula mu bizinensi ezitannaba kuggulwawo, wabula ng'eyamasomero ga Nassale teyagikoonako.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts