Tuesday, February 16, 2021

Bakuzizza olunaku lwa kondomu

Bakuzizza olunaku lwa kondomu

UGANDA yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kondomu.

Abatuuze b'e Ndeeba n'ebitundu ebyetooloddewo baasomeseddwa ku ngeri y'okwekuuma siriimu ssaako okwewala embuto ze bateetegekedde nga bayita mu nkozesa ya kondomu entuufu.

Abamu baakebereddwa omusaayi okuzuula oba balina siriimu n'endwadde endala ez'ekikaba oluvannyuma lw'okubabudaabuda.

Bino byabadde mu lusiisira lw'ebyobulamu olwategekeddwa ekibiina kya Uganda Cares mu kukuza olunaku lwa kondomu mu nsi yonna ku mikolo egyabadde mu Besaniya zzooni mu Ndeeba ku Lwokuna.

Martha Mbabazi Atai omukwanaganya w'ekibiina kya Uganda Cares mu masekkati ga Uganda yagambye nti olusiisira luno lwajjumbiddwa era bangi ku batuuze abali mu mugotteko gw'omu Ndeeba baakebeddwa siriimu ne baweebwa ne kondomu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts