Tuesday, February 16, 2021

Wabeewo okugabana obuyinza - Katumba

Wabeewo okugabana obuyinza - Katumba

JOHN Katumba, omu ku bantu 11 abaavuganya ku Bwapulezidenti mu kalulu ka 2021 ayagala wabeewo okugabana obuyinza mu Gavumenti kimalewo okusika omuguwa okuliwo mu ggwanga olw'ebyobufuzi.

Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire e Ntinda, Katumba yategeezezza nti Bannamateeka be baamuwabudde eby'okuwaaba abyesonyiwe era amaanyi agasse ku kulwana okulaba nga wabaawo okugabana obuyinza mu bantu bonna 11 abaavuganya. Yasabye bannaddiini okumuwagira ku kiteeso kye.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts