ABAKRISTU okuva mu bitundu eby'enjawulo baalamaze ku kijjukizo kya Amansi ne Mapeera mu kisomesa ky'e Kitebi ne bakubirizibwa okujjukira abantu abaakolerera ennyo eddiini yaabwe.
Okusaba kwakulembeddwaa Fr. Richard Nyombi, okuva mu kibiina kya ba White Fathers, nga ye bwanamukulu w'ekigo kya Mapeera e Nabulagala awaaterekebwa ebisigalira by'abaminsani bano, Amansi ne Mapeera.
Okulamaga kuno kubaawo buli mwaka ng'Abakristu bajjukira olunaku Amansi ne Mapeera, abaaleeta eddiini y'Obukatoliki mu ggwanga, lwe baatuukirako e Kitebi nga February 21,1879. Baatuukira Kigungu e Ntebe, n'oluvannyuma ne boolekera olubiri lwa Ssekabaka Muteesa I, e Lubaga.
Paul Sendi, ssaabakristu w'ekisomesa kino agambye nti, omulamwa gw'omwaka guno gwa kukulaakulanya Masakalamentu nga bagatambuza mu bitundu eby'enjawulo.
Oluvannyuma waabaddeewo okulombera omugenzi Amir Ssekikubo, Dduwa okwebaza Katonda ebirungi bye yamukozesa.