Thursday, February 25, 2021

Bamukutte ne nnamba z'emmotoka

Bamukutte ne nnamba z'emmotoka

POLIISI y'e Ntinda ekutte omusajja abadde atigomya ab'emmotoka ng'abba nnamba puleeti n'abateeka ku nninga bamuwe ssente okuzibaddiza.

Farouk Matovu 25, omutuuze w'e Nakawa, baamukwatidde Nakawa okuliraana Total ku Lwokubiri oluvannyuma lw'abaserikale okumala ekiseera nga bamulinnya akagere.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, Matovu yabagambye nti, abadde atambula mu matumbi budde mu bitundu okuli Ntinda, Kiwatule, Kulambiro, Naggulu, Nakawa, Kigoowa, Kisaasi n'emiriraano ng'aggya nnamba ku mmotoka n'azikweka.

                               Matovu

Yayongeddeko nti, abadde azikweka mu kifo ekiriraanye ne nnannyini mmotoka w'abeera. Ezimu abadde azisimira ebinnya mu nsuku, ezimu abadde azikweka mu kasasiro olwo n'aleka nnamba y'essimu ku ndabirwamu ng'agamba nnannyini mmotoka bw'aba ayagala nnamba ye, akube ku ssimu eyo.

Owoyesigyire yayongeddeko nti, abadde abasaba ssente bwe bamala okuzisindika ku ssimu ng'alyoka abalagirira we yakwese nnamba zaabwe.

Yayongeddeko nti, yabatutte mu bitundu bya Kigoowa, Northern Bypass, Kiwatule ne Kulambiro gye baasanze ennamba za mmotoka mwenda

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts