OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu.
Ennyama eno tebeeramu magumba, gasunsulwamu nga baakagisala oluvannyuma n'eteekebwa mu kyuma ekigisa, ebibadde ebifi ebinene ne bifuuka ennyama ensekule. Bw'ogifumba eggya mangu nga bw'ogirya egonda era ewooma.
BY'OSOBOLA OKUKOLA MU NNYAMA ENSE
Osobola okukolamu ssumbuusa, kebaabu, bbaga, caapu, sosegi, n'eby'okulya ebirala. Ebyokulya bino, ekisembayo bbeeyi eya wansi ye ssumbuusa nayo ng'osobola okutunda 1,000/- ebirala ebikolebwa mu nnyama eno nga kebaabu ne caapu bya 3,500/- ne 5,000/- okusinziira ku kifo w'oguze, kyokka nga muteekebwamu ennyama ntono ddala.
Mu kkiro emu osobola okukola kebaabu 15 n'okusukkawo okusinziira ku nnyama gy'oteekamu kubanga otabulamu ebirungo ebirala ng'amagi, ehhano n'ebirala. Bwoba osobola okutunda kebaabu nga 100 olunaku ku 3,500/- kitegeeza okola 350,000/-.
Olw'okuba ebyokulya ebikoleddwa mu nnyama eno bibeera ku buseere ate gwe bwe weegulira paketi y'ennyama eno naawe osobola okukekkereza n'okubyekolera n'obirya.
Ate bw'oba osazeewo kugikozesa mu bizinensi osobola okukola ebyokulya bingi kyokka ng'obitunda ku bbeeyi ya waggulu. Era ennyama eno olw'okuba egonda nnungi okugabirira abaana n'abakadde .
EBBEEYI Y'ENNYAMA ENSE
Ennyama eno bagisala nga ya mutindo gwa waggulu ng'erimu emitendera egy'enjawulo. Mulimu eyitibwa Special minced meat nga bagikola mu nnyama y'ente etaliimu masavu. Eno y'esinga okuyaayaanirwa ku katale kubanga bw'ogifumba tereeta masavu. Kkiro ya 12,000/- .
Ekika ekirala ekikolebwa kiyittibwa Ordinary minced meat ng'eno ebeeramu amasavu amatonotono, kkiro ya 10,000/- ku bbeeyi y'omusuubuzi ng'ogiguze ku lufula. Wabula bw'ogisanga etundibwa mu maduuka amanene kkiro ya 15,000/- ne 18,000/-.
OKUGIKUUMA
Ennyama eno olw'okuba ebeera wamu tosobola kugikalirira nga weetaaga okugikuuma obulungi ereme okwonooneka. Engeri ekyasinga okubeera ennungi okukuuma ennyama ense kwe kugitereka mu firiigi n'esigala ng'ennyogoga ekiseera kyonna.
Bisakiddwa SARAH ZAWEDDE okuva ku Allan Bukenya mu Lufula ya Industrial area.
Thursday, February 25, 2021
Kola ebyokulya mu nnyama ense oyongere ku nfunayo
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...