
Bya Samuel Balagadde
By'abadde biwoobe na miranga ng'omulambo gwa Musa Bagume gutuusibwa ku butaka. Bagume yattibwa mu bukambwe mu ggwanga lya South Sudan wiiki ewedde.

Yaziikiddwa ku biggya bya bajjajja be ku kyalo Kiryammuli e Bombo. Okumuziika kwetabiddwaako abasuubuzi okuva mu Kampala n'ensalo ya Uganda ne Sudan eya Eregu.
Asadu Musisi Ssentongo ssentebe w'ekibiina ekigatta ba ddereeva ba lukululana ekya Regional Heavy Truck Drivers Association eyazze n'omulambo yannyonnyodde abakungubazi ebyaliwo nga bakuba Bagume amasasi mu bitundu by'e Jebere ng'era banne be yali nabo baasimattuka ne badduka.
Ssentongo yategeezezza nti okuggyayo omulambo tebibadde byangu kubanga baasooka ne babasasuza 740,000/-, bazzaako 370,000/- ez'okukebera omulambo oba teguliimu Covid 19 ne 37,000/- eze ggwanika buli lunaku okumala ennaku nnya.
Abdullah Kasakya, ssentebe wa Kiryammuli-Bombo yavumiridde ettemu lino n'asaba wabeerewo obwenkanya.