ABA FDC bataddewo ekibinja kya bannamateeka okuyamba ku ffamire z'abantu abazze bakwatibwa n'abo abatannaba kuzuulibwako mayitire.
Amyuka ssaabawandiisi w'ekibiina kya FDC, Harold Kaija yategeezezza nti bannamateeka baabwe bakulembeddwa Isaac Ssemakadde, Abed Nasser Mudiobole n'abalala bangi.
"Tutaddewo emmeeza ey'enjawulo egenda okukola ku nsonga z'abantu abazze bawambibwa n'abo abatannaba kuzuulibwa okulaba nga ffamire zaabwe zifuna obwenkanya," Kaija bwe yategeezezza.
Bino yabyogeredde mu lukuhhaana lwa bannamawulire ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi ku Mmande.
Bino we bijjidde nga Pulezidenti Museveni yaakalagira amyuka aduumira poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Paul Lokech buli muntu eyakwatibwa atwalibwe mu kkooti n'ayimiriza n'abadde akulira ebikwekweto by'okukwatira abantu mu mmotoka eyakazibwako 'Drone'.
Source