Friday, February 19, 2021

Don Anthony Mugambi addukiridde omuyimbi Evelyn Lagu n'akowoola basereebu banne okuvaayo nabbo bamuyambe.

Don Anthony Mugambi addukiridde omuyimbi Evelyn Lagu n'akowoola basereebu banne okuvaayo nabbo bamuyambe.

Bya Martin Ndijjo
Evelyn Nakabiri abangi gwe bamanyi nga Evelyn Lago munnakatemba ate nga muyimbi eyakuyimbira ennyimba okuli; Ogumanga n'enjala yo, Akalulu, Mbulira n'enddala ali mu buzibu oluvannyuma lw'abasawo nga bewe yeetaga ensingo empya ya Bukadde 250.
Lagu amaze ebbanga nga atawanyizibwa endwadde omuli n'ekibumba. gyebuvuddeko embeera ye yaali etereddemu ne bamusibula ne mu ddwaaliro ekyaleetawo essuubi mu bawagizi be nga balowooza awonye kyokka bazeemu okuwuulira ate nga ng'ali bubi.
Lagu agamba abasawo bazzeemu okumukebeera ne bakizuula nga bw'alina ekizibu ku nsigo nga kati yeetaga kugenda mu Buyindi okumuteekamu ensigo enddala.
Embeera eno yewalirizza Don Mugabi omu ku bannayuganda abakolera e Turkey olunaku lwa leero okuvaayo amuddukirire era ono amuwerezza ssente akakadde kamu nga zino zimukwasiddwa, Shamim Braize ku lwa Mugabi.
Ono asuubiza okwongera okumuyamba era n'akunga ne bagagga banne okuvaayo bayambe Lagu wamu n'abantu abalala.
Guno mulundi gwa kubiri nga Mugabi addukirira Lagu ne mu kulwala omulundi ogwasooka yamuwa obuyambi era Lagu abadde omusanyufu ategezezza nti wadde abantu bavuddeyo okumuyamba, ssente ezakasondebwawo ntono nnyo akyetagiraddala obuyambi era mu mbeera ey'okwogera okukung'anya ssente bategesewo olunaku lw'okwoza mmotoka ng'erimu ku makubo mwe basuubira okufuna ssente


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts