Friday, February 19, 2021

Hippos ne Mauritania zirwanira kyakubiri

Hippos ne Mauritania zirwanira kyakubiri

Bya HUSSEIN BUKENYA                                                                                                                                              Mu za Afrika ez'abato Uganda 0-1 Cameroon Lwamukaaga Mauritania - Uganda

EMIKISA gya ttiimu ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 20 okuva mu kibinja gyakalubye. Yakubiddwa Cameroon (1-0) nga kati erina kuwangula bannyinimu aba Mauritania mu gusembayo mu kibinja enkya ku Lwomukaaga.

Hippos yasigadde mu kyakubiri ku bubonero 3 mu mipiira ebiri mu kibinja ekikulembeddwa Cameroon ku bubonero 6. Hippos ku Mauritania yeetaaga buwanguzi okumalira mu kyokubiri ku bubonero 6 kuba buli kibinja kivaamu ttiimu 2 okugenda ku 'quarter'.

Mu kaseera kano, Mauritania abategesi b'empaka zino, balina wiini emu oluvannyuma lw'okuwangula Mozambique (2-0). Omupiira gwa Mauritania gusuubirwa okuba omuzibu kuba be bategesi nga bayinza okuteekawo omutindo omulungi nga bwe baakoze ku Mozambique.

Hippos omukisa omulala gw'erina okuyitawo gwa kukola amaliri n'emalira ku bubonero 4 esobole okugenda nga ttiimu eyookusatu ku zisinze okukola obulungi mu kibinja. Morley Byekwaso, atendeka Hippos yategeezezza nti Mauritania basobola okugikuba kuba abazannyi bakimanyi nti gwe gulina okubayisaawo ate n'ensobi ezaabakubizza Cameroon bagenda kuzigolola mu bwangu.

"Twakubiddwa kati byafuuse byafaayo, tutunuulidde Mauritania era tusobola okugiwangula," Byekwaso bwe yategeezezza.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts