Saturday, February 20, 2021

E Kanungu abaana basiiba mu butale nga beeyiiya

E Kanungu abaana basiiba mu butale nga beeyiiya

Bangi ku bayizi ababeera mu kitundu ky'e  Kihihi mu distulikiti y'e Kanungu obudde bwabwe babumala bavuga bigaali mu butale nga banoonya ssente.

Abaana mu katale k'e Kihihi.

Abamu be twayogeddeko nabo batutegeezezza nti banyumiddwa oluwummula lwa COVID 19 kubanga beekolera ssente ate abalala nti bakooye awaka baagala kuddayo ku ssomero basome.

Waliwo abatugambye nti ssente ze bazze bakola zigenda kubayambako ku ffiizi era omwezi ogujja we gunaatuukira nga bawezezzaawo bayambe ku bakadde baabwe. Kyokka abamu ku basuubuzi bali mu kutya nti abamu ku baana bandigaana okuddayo olwa ssente ennyingi ze bafuna.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts