Saturday, February 20, 2021

Abaana b'e Kanungu basiiba mu butale nga banoonya ffiizi

Abaana b'e Kanungu basiiba mu butale nga banoonya ffiizi

Bangi ku bayizi ababeera mu kitundu ky'e  Kihihi mu distulikiti y'e Kanungu obudde bwabwe babumala bavuga bigaali mu butale nga banoonya ssente.

Omwana ng'atwala emmere ya kasitoma.

Abamu be twayogeddeko nabo batutegeezezza nti banyumiddwa oluwummula lwa COVID 19 kubanga beekolera ssente ate abalala nti bakooye awaka baagala kuddayo ku ssomero basome. Abamu batugambye nti ssente ze bazze bakola zigenda kubayambako ku ffiizi era omwezi ogujja we gunaatuukira nga bawezezzaawo bayambe ku bakadde baabwe.

Kyokka abamu ku basuubuzi bali mu kutya nti abamu ku baana bandigaana okuddayo olwa ssente ennyingi ze bafuna.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts