Thursday, February 4, 2021

E Kayunga okulonda kwatandise kikeerezi

E Kayunga okulonda kwatandise kikeerezi

KAYUNGA Okulonda Bassentebe ba LC3 e Kayunga ne Bakkansala baabwe kwatandise kikeerezi era abalonzi abaakedde mu bifo awalonderwa bakonkomadde ppaka ssaawa 3:00 awalala ssaawa 5:00.

Robert Kabanda omu ku bavuganya ku ky'obwa Ssentebe wa LC3 mu lukiiko lwa Mukono Central Division.

Kino kivudde ku bikozesebwa okutuuka ekikeerezi era abalonzi baalinze ng'obululu tebutuuka n'ekivuddemu kubadde kuyomba n'abeebyokulonda abaabaddewo. Ku Bwetyaba R/C Primary School mu muluka gw'e Bukolooto obululu bwa kkansala omukyala ate baafunye bw'e Kiwangula ekiri mu ggombolola y'e Busaana okutuusa lwe banoonyezza obutuufu ne babuleeta olwo n'obwe Kiwangula ne butwalibwayo.

Ku Kayunga R/C Primary School obululu bwonna baafunye bwa ku Kayunga Mixed ate ekyuma ekikwata engalo baafunye kya Kitwe UMEA ekisangibwa mu ssaza ly'e Bbaale. Joy Nabikolo ne Robert Suuna abaakuliddemu okulondesa baategeezezza nti waliwo enkyukakyuka ezaakoleddwa mu balondesa ate bakama baabwe ne bazibategeeza ku makya era nga kino kye kimu ku bireese akavuyo n'okukeereya ebyokulonda.

Joy Nabikolo ne Robert Suuna abaakuliddemu okulondesa baategeezezza nti waliwo enkyukakyuka ezaakoleddwa mu balondesa ate bakama baabwe ne bazibategeeza ku makya era nga kino kye kimu ku bireese akavuyo n'okukeereya ebyokulonda.

MAYUGE Akakiiko akatwala ebyokulonda mu disitulikiti y'e Mayuge kasazizzaamu akalulu k'obwassentebe bwa LC ssatu mu Mayuge Town Council ng'entabwe evudde ku kuba ng'omu ku beesimbyeewo ku kifo kino ekifaananyi kye obutabeera ku kalulu.

Abeesimbyewo abamu aba NUP ate baabadde bateekeddwako kabonero ka bbaasi aka NRM. Abataabadde ku kakonge kuliko; Muhamadi Mutalemwa Bagulaine ono nga ye yasooka okuweebwa kaadi ya NRM wabula oluvannyuma n'emuggyibwaako ate n'eweebwa abadde ssentebe wa Mayuge Town Council, Wilson Mulaabbi.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts