BENJAMIN SSEBAGGALA NE MARGARET ZALWANGO
KKOOTI yamagye etudde e Makindye eragidde abawagizi ba Bobi Wine okuli Eddie Ssebuufu (Eddie Mutwe) Buken Ali (Nubian Li ) bazzibwe ku limandi okutuusa February 8.
Sentebe wa Kkooti y'amagye Andrew Guti yaawadde ekiragiro kino nti kwolwo lwe balikomawo oludda oluwaabi lwanukule ku kusaba kwabwe okweyimirirwa.
Bannamateeka abakulemberwa Benjamin Katana bataddeyo okusaba mu kkooti abantu babwe babeeyimirire.
Ekya ya leero baleeteddwa ku kkooti e Makindye nga babatambuliza mu loole y'amagye kyokka abamu balabise nga balina obuvune obwenjawulo era basitudde basitule okubaggya ku loole.
Bano babakwatira Kalangala ku nkomerero ya December ne baggulwako emisango egy'enjawulo mu kkooti e Masaka eyabakkiriza okubeeyimirira kyokka amagye ne gaddamu ne gabakwata.
Kkooti yamagye yabasomera emisangi okuli okusangibwa n'amasasi gye bali mu kuwerennemba nagyo.
Ebisingawo tugenda kubikutusaako mu Lupapula lwa Bukedde