Monday, February 1, 2021

RDC omuggya agumizza Bannamityana ku bakuumaddembe

RDC omuggya agumizza Bannamityana ku bakuumaddembe

RDC eyaakasindikibwa mu disitulikiti y'e Mityana, Herman Ssentongo agumizza Bannamityana, nti ebikolwa by'abakuumaddembe ebibadde bitandise okwemulugunyizibwako bigenda kukoma, kyokka n'abalabula nti nabo bafeeyo okukuuma amateeka.

"Naakayingira ofi isi alipoota ezimu tezinnaba kunkwasibwa naye bagenda kumbuulira byonna ndabe we ntandikira okubirondoola. Nze nkulira ebyokwerinda era nja kulondoola bulungi ndabe ng'abantu babeera mu mirembe," bwe yagambye. Yabyogedde akwasibwa ofi isi ye e Mityana.

RDC Ssentongo yavudde mu disitulikiti y'e Masaka nga yasikidde Isha Ntumwa, eyasindikiddwa mu disitulikiti y'e Mbarara. Ntumwa ng'amukwasa ofi isi yamutegeezezza nti ekizibu ky'enkaayana z'ettaka kye kisinga okuluma abantu mu kitundu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts