Tuesday, February 16, 2021

Eyafiiridde mu nnyonyi alese omwana wa myezi 6, n'omulala wa myaka ebiri

Eyafiiridde mu nnyonyi alese omwana wa myezi 6, n'omulala wa myaka ebiri

EGGYE ly'omu bbanga lisabidde abadde omugoba w'ennyonyi Capt. Carol Busingye ayafiiridde mu nnamunkanga ya poliisi eyaggudde ku Lwokuna e Ntebe okumpi ne Spinner Beach.

Alese abaana abalenzi babiri ng'asembayo alina emyezi mukaaga ate omulala wa myaka
ebiri.

Omwoyo gwa Capt. Carol Busingye gwasabiddwa mu klezia y'e Bugonga. Faaza Gerald Mpangu eyakulembedde Mmisa yasabye abantu okukola buli kye bakola
n'obumalirivu n'omutima gumu ate nga batya Katonda ng'omugenzi bw'abadde akola.

Brig. Rebecca Mpagi eyakiikiridde omuduumizi w'eggye ly'omubbanga yayambalidde
abantu abamala googera bye basanze nga n'ebimu tebabimanyi, kye yagambye nti kikyamu nga kivaako okwawula n'okutabangula eggwanga nga abakikola baakunnyonnyola nga bagenze eri Katonda.

Yagambye nti tebannaba kuzuula kyavuddeko kabenje kano nga waliwo akakiiko akaateereddwawo okunoonyereza.

Yasomye obubaka bw'omuduumizi w'eggye ly'omu bbanga Lt. Gen. Charles Lutaaya eyasiimye emirimu egikoleddwa omugenzi gwe yagambye nti abadde mumalirivu.

Ssenga w'omugenzi, Beatrice Kenyangi yagambye nti okufiirwa omwana omuto bw'ati kubeera kugezesebwa ne yeeyama okuyamba bamulekwa.

Capt. Busingye Yazaalibwa mu 1976 e Rukungiri.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts