Edward Luyimbaazi
OMULAMUZI Yasin Nyanzi eyaweebwa fayiro y'omusango gw'abatuuze b'e Nakawa abaasengulwa ku luguudo lw'eggaali y'omukka mu 2014 ataddewo olwa February 24, 2021 okutandika okuguwulira oluvannyuma lw'emyaka 6 ng'abatuuze bano beewuuba mu kkooti. Omulamuzi Nyanzi kati yali mu mitambo gy'omusango guno okuva ku mulamuzi Damalie Lwanga.
Omulamuzi Nyanzi yabadde waakutandika okuguwulira nga February15, 2021 wabula teyasobodde abatuuze ne balagirwa okudda mu kkooti nga February 24, 2021. Bano baagala ekitongole kya KCCA kibaliyiririre olw'okubasengula nga tebalina lukusa. Abatuuze bawera 800 nga ku fayiro eno bakiikirirwa bannaabwe okuli Ali kiberu, Wilson Bitolere, Abdul Hussein Sseguya, Fred Sekasamba, Geofrey Kabinge, Hussein Semuwemba ne Jane Nanyonjo nga baagala KCCA ebaliyirire obuwumbi 38 olw'ebintu byabwe bye baayonoona. Bavunaana eyali akulira ekitongole kya KCCA, Jennipher Musisi n'eyali akulira okuteekerateekera ekibuga Kampala, Moses Atwine okujeemera ekiragiro kya kkooti ekyali kibagaana okumenya amayumba g'abantu kyokka ne bagenda mu maaso n'okubamenya.
Omusango guno guzze gukyuka empaaba era nga gwakamala emyaka egisukka mu mukaaga ng'abatuuze bano babbinkana n'ekitongole kya KCCA okulaba nga baliyirirwa era ng'abantu bano bava mu miruka gya Nakawa egy'enjawulo okuli Banda, Mbuya ne Kiswa -Kataza .
Oluvannyuma lwa kkooti abamu ku batuuze bano beekokkodde ku bam uku bannaabwe abatandise okwagala okubalemesa okutambuza obulungi omusango guno nga baagala okubawulamu.
Ali Kiberu eyakulemberamu abatuuze bano yabasabye okubeera obumu mu musango guno basobole okugutambuza obulungi.