BYA WASSWA B. SSENTONGO
EMIRANGA n'okwazirana bibuutikidde abatuuze ku Kyalo Kiziba mu Nakaseke Town Concil abantu ab'ettima bwe balumbye famire ne bagyokera m nnyumba okukkakkana ng'abantu bana bafiiriddemu.
Abafudde kuliko: Matia Lukwago 92 amanyikiddwa nga Kabaleega ne bazukkulu be basatu okuli Gladys Nanyonjo 3, Christine Nakate 4, Steven Bamulasa 10 nga bonna baabadde mu nnyumba.
Wabula abatuuze bakitadde ku mpalana nga kigambibwa nti mukyala w'omugenzi abadde talima kambugu ne baliraanwa ng'era ekigendererwa kirabika kyabadde kya kutta mukazi kyokka ye yasimattuse oluvannyuma lw'okusangibwa nga tali mu nnyumba.
Ssentebe w'ekitundu kino, Mpagi Ssebastian ategeezezza nga bwe zibadde empalana n'asaba Poliisi okulaba ng'enoonyerezza ku ttemu lino.
Ye Nnamwandu Justine Namagembe ategeezezza nga bw'abadde n'empalana ne baliraanwa be nga bamusibako eky'obulogo.